Bya Francis Ndugwa
Kakeeka – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asabye abakulira Settendekero wa Muteesa 1 Royal University okuteeka amaanyi mu kunoonyereza kiriyambe okuyitimuka.
Entanda eno, Owek. Kaawaase agiweeredde mu lukiiko lwa balina emigabo mu Ssettendekero lino oluyindidde e Kakeeka Mmengo ku Lwokuna nga Beene akiikiriddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro.
Mu kwogera kwe, Prof. Kaawaase agambye nti Muteesa I erina okukola okunoonyereza (Research) okugasa egwanga ne nsi yonna era nokulaba nti buli musomesa abaako okunoonyereza kwakola kuba yengeri yokka Muteesa gyesobola okufuuka Ssettendekero ayogerwako.
Owek. Kaawaase yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okutandika ssetendekero eno ate nokugiwagira mu lugendo lwaayo olwokufuna Charter ekigyongedde obuganzi mu bantu.
Ono yeebazizza Kkabineeti ya Buganda ne Kkanso egikulembera olwokuteeka mu nkola byonna ebyeetagisa okulaba nti MRU efuna Charter.
Olukiiko olufuzi alusabye okulaba nga batuusa ku ntikko Ssettendekero eno naddala nga beyambisa Charter okufuna obuyambi n’obuvujirizi emirimu gisobole okutambula.
Akiikiridde Katikkiro mu lukung’aana luno era nga ye mumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abasabye okukuuma ebitabo obulungi bulijjo era biyambe abayizi okufuuka ab’omutindo.
Ye Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko akubiriza kkanso ya Ssettendekero ono okussa mu nkola ebyo byonna ebibasubirwamu nga bwebirambikidwa mu Namutayika yo bwa Kabaka 2023 – 2028.