Bya Shafic Miiro
Bukalasa – Bulemeezi
Bammemba b’olukiiko oluteekateeka olunaku lw’Abavubuka mu Buganda lulambudde ekifo awanaabeera emikolo emikulu egy’okujaguza olunaku luno ku ttendekero lya Bukalasa Agricultural College e Wobulenzi mu Bulemeezi.
Bano ababadde bakulembeddwamu Ssentebe w’Olukiiko luno, Owek. Mulwana Kizito bategeezezza nti ekifo kino kigazi ddala era lukunze abavubuka okweyiwa e Bulemeezi bajaguze olunaku luno.
Ssentebe Mulwana era asabye abakulembeze b’Abavubuka ku mitendera gyonna okwetolooola Buganda okukunga abantu baabwe beeyiwe e Bukalasa.
Ye Omwami wa Kabaka atwala essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo yeebazizza olw’omukisa ogwabaweereddwa okuteekateeka olunaku luno, nagattako nti buno buwanguzi bwakubiri okugatta ku bw’okuwangula ekikopo ky’Amasaza eky’omwaka 2023.
Kkangaawo agamba nti omulamwa gw’okulwanyisa mukenenya mukulu nnyo naddala mu kiseera kino nga disitulikiti ya Luweero ne Nakaseke, obulwadde bweyongedde.
Bwatyo akunze Bannabulemeezi okujja mu bungi ku lunaku olwo bongere okujaguza obuwanguzi bwabwe.
Ssentebe w’Abavubuka mu Bulemeezi, Ntege Yosam agamba nti bbo ng’abavubuka Abalyannaka beesunze olunaku luno, era akowodde n’abavubuka mu masaza amalala okujja bongere okunyweza obwasseruganda.
Ono era abakunze okwetaba mu byoto ebitegekeddwa mu masaza gonna ku Lw’omukaaga nga 25 omwezi guno okwongera okumanya obuwangwa bwabwe.
Olunaku luno lugenda kukwatibwa nga 1, Decemba 2023 era nga lujja kukulemberwamu ebijaguzo eby’enjawulo omuli ensiisira z’ebyobulamu n’ezamateeka, n’ebyoto mu masaza ag’enjawulo.