Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira kkooti y’ Amagye etuula e Makindye, Brig Gen. Robert Freeman Mugabe, agaanye okuyimbula abawagizi ba NUP 32 ku kakalu kaayo nga bwebabadde basaba.
Abakwate bano baaleeteddwa mu maaso g’akulira kkooti eno, oluvanyuma lwa kkooti okuteekawo olunaku lwa leero ku Mmande okuwa ensala ku kweyimirira kwabwe.
Mu nsala y’abatuula ku lukiiko lwa kkooti eno, esomeddwa Ssentebe waayo Freeman Mugabe eraze nti abasibe 28 kwabo 32 abantu bebaaleeta okubeyimirira sibaamuggundu era tebabalinaako kakwate konna.
Ssentebe wa kkooti eno, Brig Gen. Mugabe agambye nti tebalina bukakafu ku busobozi bw’ ababadde baleeteddwa okweyimirira abantu bano okubakaka okudda eri kkooti nga ebeetaaze.
Abasibe 4 ku 32 bayimbuddwa nga ku bano kuliko; Richard Nyombi, Kenneth Kamya, Shafiq Ngoobi ne Ronald Mayega.
Bano bateereddwa ku kakalu ka kkooti ka nsimbi emitwalo 50 ez’obuliwo buli omu ate obukadde 2 ezitali zaabuliwo eri abo ababeeyimiridde. Era balagiddwa obutagezaako kufuluma disitulikiti ya Kampala ne Wakiso nga tebasoose kufuna lukusa lwa kkooti eno.
Munnamateeka w’ abavunaanibwa George Musisi ategeezezza nti ensala eno eyongedde okuyenjebula kkooti y’amagye etuuse nokusalawo nti abamu kubeyimirira abantu bano tebaliimu nsa.
Kinajjukirwa nti abasibe bano bagenda kuweza emyaka 2 kasokedde basimbibwa mu kkooti y’amagye okuwerenemba n’emisango gyabwe egy’okusangibwa n’engoye ezifaanana ez’amagye.
Guno omulundi gwa 4 nga abasibe bano bateekayo okusaba kwabwe okw’okweyimirira eri abakulira kkooti eno naye nga kusuulibwa mu kasero era nga ensala ya leero eraga nti bakwongera okusigala munda.