Bya Ronald Mukasa
Masaka -Buddu
Abatakabanira eddembe ly’abaana wamu n’abakulembeze mu kibuga Masaka benyamidde olw’omuwendo gwa baana abawangaalira ku nguudo ogweyongera buli lukya .
Bano basabye gavumenti okwongera amaanyi mukulwanyisa ekizibu kino ng’embeera tenasajjuka.
Akulira bannakyewa aba Masaka Child Restoration outreach Aidah Nkolentah, nga bano batakabanira okubudabuuda abaana bo ku nguudo nga babaza mu maka gyebava, agamba nti abaana abasinga okugwera ku nguudo mu kibuga Masaka, bava mubitundu eby’omugotekko mu kibuga kino nga Nyendo, Ssenyange, Ssaza ne katwe saako ne disitulikiti ezirinaanye Masaka.
Nkolentah annyonnyodde nti abaana bano abasinga bajja ku nguudo w’ekibuga mu biseera by’okukwata ensenene kyokka bwebigwako tebaagala kudda wabwe.
Aidah Nkolentah agattako nti omwaka oguwedde gwokka, abaana 140 beebasobola okujja kunguudo era nasaba abakulembeze okubaga amateeka agayamba okulungamya ku ddembe ly’abaana.
Omukwanaganya w’abantu ne poliisi mu Munisipaali ye Nyendo Mukungwe, Maurine Ibanda Leticia ategeezezza nti nga bakozessa emikutu egyenjawulo basomesa abazadde ku buvunanyizibwa bwabwe eri abaana.
Ono anokoddeyo ebizibu ng’obutanguko mu maka, okutulugunyizibwa kw’abaana, saako n’ okulekebwawo ab’enganda nga bazadde bamaze okufa ekyongedde omuwendo gw’abaana bano okweyongera.
Abaana abasoba mu 300 beebakataasibwa bannakyewa bano nga bano bava mu bintu nga Nyendo, Kijjabwemi, Kimaanya ne Kyabakuza.