Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ya Uganda esazizzaamu layisinsi za kkampuni ezitwala abantu ebweru eziwerako ng’egavunaana olw’okulemwa okugondera amateeka n’ebiragiro ebyateekebwawo.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kufulumya abantu mu ggwanga, ekimanyiddwa nga ‘Immigration Office’ kyategeezezza nti kkampuni zino ziwerera ddala munaana (8) era ezimu ku zo ziyimiriziddwa okumala akaseera.
Kkampuni eziggyiddwako layisinsi kuliko; Top Notch Recruitment Services (U) Limited, Fly International Jobs (u) Ltd ne Sahara Recruitment Agency Limited.
Endala ye; Al-Saud Agency Limited Kibuye, Middle East Consultants Limited e Muyenga, The Eagles Supervision Limited e Mengo ne Forbes Enterprises Limited esangibwa e Kiwatule.
Abantu abamu naddala abakulembeze basanyukidde ekikolwa kino nga bagamba nti kkampuni zino zibadde zitunda bannayuganda mu buddu.
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago yategeezezza nti kkampuni zino zitunda bannayuganda kyokka ne ziremwa n’okubalondoola awamu n’okubayamba nga bafunye obuzibu mu mawanga gye babeera batwaliddwa.
Bino we bijjidde nga bannayuganda bangi bakyakukusibwa nga bayisibwa e Kenya ne batwalibwa mu kyondo kya Buwarabu, okukola obwayaaya wabula ng’abamu batulugunyizibwa bya kitalo awatali kuyambibwa kwonna.