• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Yiino alipooota ku mpaka z’ Amasaza, n’ebigenda okukolebwa

Gambuuze by Gambuuze
April 19, 2022
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Yiino alipooota ku mpaka z’ Amasaza, n’ebigenda okukolebwa
0
SHARES
63
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Akakiiko akateekebwa Obwakabaka okunoonyereza ku mivuyo egiri mu mipiira gy’ Amasaza kanjudde alipoota ku byekazudde awamu nekyo ekirina okukolebwa okukuuma empaka zino  ku lukalu lw’ Afirika n’ensi yonna.

Akakiiko kano akakulirwa Sabiiti Muwanga kaalondebwa mu April 2020,nga besigama ku mivuyo egyaliwo mu mpaka za 2019 omwafiira n’omuwagizi mulamba.

Kinajjukirwa nti mu 2019 nga Buddu esamba Mawokota ku kisaawe e Mpigi gwalimu emivuyo era gyebyagwera ng’ omuwagizi aluguzeemu obulamu, era wano akakiiko akakulembera omuzannyo guno kateekawo akakiiko ak’enjawulo okunoonyereza ku mivuyo egilabikira mu mpaka zino nekiyinza okukolebwa okutaasa ekifaananyi kyazo.

Mu byanjuddwa mu alipoota  eno ng’ebisoomooza kwekuli; ennamula y’omupiira ey’ekiboggwe, okubulankanya ssente mu masaza ag’enjawulo. Okuyingiza eby’obufuzi ebyawula mu nzirukanya ya ttiimu z’amasaza, abazannyi okugulirirwa, abakulembeze obuteewa kitiibwa awamu n’ebirala.

Alipoota erumiriza abamu ku baweereza b’ebitongole mu Bwakabaka okweyisa mu ngeri etasaanidde nga kino kituukira ddala wansi ku masaza ag’enjawulo.

Wabula ssentebe w’ akakiiko kano Muwanga ategeezezza nti ensonga zonna nga bwezivuddeyo zisobola bulungi okufunirwa eddagala okusobola okutaasa omuzannyo guno n’okukuza ebitone.

Bw’abadde ayaniriza alipoota eno Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo n’okwewummuza Mu Buganda,  Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, yeebaziza olukiiko ku kunoonyereza kuno n’omulimu gwonna kuba gwakolebwa mu budde bwa COVID-19.

Owek. Ssekabembe annyonnyodde nti ensonga zino zigenda kwongera okulondoolwa era zakukwatibwa n’obwegendereza okusobola okukuuma omutindo gw’ empaka zino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist