Bya Ssemakula John
Kampala
Omuvubuka Ssejjemba Martin ayingidde mu byafaayo bwafuuse ssentebe wa disitulikiti ye Mpigi owa LC5 ku myaka 28 gyokka oluvannyuma lw’okuwangula banne abasatu ababadde mu lwokaano.

Sejjemba nga yabadde ne bbendera ya National Unity Platform (NUP) yawangudde munnabyabufuzi era eyaliko omubaka wa Mawogola North, Peter Claver Mutuluuza eyabadde ku kkaadi ya National Resistance Movement (NRM) era nga yabadde ssentebe wa Mpigi.
Ebyalangiriddwa akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Mpigi, Flavia Namujulizi byalaze nti Ssejjemba yafunye obululu 29711 ate Mutuluuza nafuna obululu 8174 ate munnakibiina kya Democratic Party (DP) nafuna 4176 so nga Ssematimba Godfrey Kasas atalina kibiina nafuna obululu 3,850.
Nga bwekyabadde mu disitulikiti ez’enjawulo okwetoloola Buganda, ku mutendera gwa bakiise ku nkiiko za disitulikiti ebifo ebisinga bwawanguddwa bannakibiina kya National Unity Platform.