URN
Wooteeri emanyiddwa
nga Jaflo Garden Hotel esangibwa mu kibuga kye Kitgum mu mambuka g’a Uganda
eganye okukiriza eb’ekisinde kya People Power ekikulemberwa omubaka wa
Kyaddondo ey’obujanvuba Robert Kyagulanye okutegekerawo olukungaana lwe. Wiiki ewedde Kyagulanyi amanyiddwa
ennyo nga Bobi Wine yalangirira nti yali wakutalaaga eggwanga naga yeebuuza
kubantu ku nteekateeka ye ey’okwesimbawo okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga
omwaka guno. Sebastian Ogoni, akuli abavubuka ba People Power mu mambuka ga
Uganda yategeezezza nti baabadde baakatuuza olukungaana lwabwe enkya ku Lwokubiri
era nga baabadde bamaze n’okusasulako emitwalo 100,000 ku 900,000 ezabadde
zibasabiddwa. Ogoni yategeezezza nti ku Lwokutaano, bannayini wooteeri baamukubira
essimu ne bamutegeeza nti ab’ebyokwerinda baalumba wooteri yabwe nababategeeza
nti balina okusaazaamu enteekateeka eno.
Akulira wooteeri eno Solomon Onono, yakakasizza nti kituufu beekyusizza kukyo
kukkiriza aba People Power okutegekerawo olukungaana nga agamba nti baatidde
ebiyinza okuddirira. Onono era yakakasizza nti essente baazifuna newankubadde
nga tebannazizzaayo.
Yayongeddeko nti era n’abantu 2000 ababdde bagenda okwetaba mu lukungaana luno tebasobola
kuddya mu kifo kyabwe. “Obweraliikirivu bwaffe buli nti bagenda kuba mu
byabufuzi ebiyinza okukosa emirimu gyaffe. Bwetwabuuzizza poliisi nayo
yatugambye nti tebannafuna lukusa kutegeka lukungaana luno,” Ono bweyategeezezza.
Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti
ye Kitgum William Komakech, yeeganye okulagira wooteeri okwefuulira aba People
Power.
Omwezi oguwedde ab’akakiiko k’ebyokulonda bakiriza Bobi Wine okutalaaga
eggwanga nga yeebuuza kubantu ku nteekateekaze. Olwaleero enteekateeka eno
egenda kuggibwako engalo okutandikira e Kyadddondo oluvanyuma yakugenda mu
disitulikiti ez’enjawulo mu mambuka ga Uganda.