![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/12/Lukwago-1024x538.jpg)
Musasi Waffe
Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agambye nti ekifo kya minisita wa Kampala kirina okuvaawo kubanga tekirina mugaso. Ekifo kino kirimu minisita Beti Namisango Kamya ne Benny Namugwanya Bugembe, ng’omubeezi we. Nga ayogerako ne leediyo ya CBS mukatundu ka Nze ngabwendaba, Lukwago yategeezezza nti ekifo kino tekirina mugaso kubanga emirimu gya minisita gisobola okukolwa minisita wa gavumenti z’ebitundu. “Uganda erimu disitulikiti 135 minisita omu yaatwala embalirira zonna mu palamenti ne kabineeti eza disitulikiti endala ky’ogamba minisita oyo tasobola kusitulirako mbalirira ya Kampala? Ekyo kizibu nnyo? Ago malya nsimbi nakuteekawo bifoofofo bitalina mugaso. Beti Kamya kaada wa NRM atalina njawulo na Butchaman, Sipapa, Catherine Kusasira,” Lukwago bweyagambye. Yagasseeko nti balina okukola enteekateeka okujjawo minisitule ya Kampala okusobola okutereeza enkola y’emirimu mukibuga. “Okuba nga minisita alina embalirira naye nga takola kukuyoola kasasiro, takola kumyala, takola kunguudo, kati aba akolaki?” Lukwago bweyeewunyizza. Pulezidenti Museveni yatadde omukono ku nnongosereza kutteeka erifuga Kampala. Etteka lino mubimu lyebyogerako kwekufuula Lord Mayor nga yakulira ekibuga. Kino kisuubirwa okumalawo okusika omuguwa wakati wa mayor n’akulira ekitongole kyabakugu muyite, Executive Director.