• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Waliwo abaagala okumalamu Abaganda amaanyi balekere awo okuyaayaanira Nnamulondo – Katikkiro Mayiga

Gambuuze by Gambuuze
May 14, 2024
in Amawulire
0 0
0
Waliwo abaagala okumalamu Abaganda amaanyi balekere awo okuyaayaanira Nnamulondo – Katikkiro Mayiga
0
SHARES
51
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa

 Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alabudde abaganda ku bantu abeesomye okutematema mu bantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka  n’ekigendererwa ky’okubatematemamu era babakyayise  Obwakabaka.

Okulabula kuno Kamalabyonna Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula eggombolola ezivudde e Kyaddondo, Buddu ne Bulemeezi oluwalo lwa bukadde obusobye mu 35.

“Tulina abantu ennaku zino abaagala okututematemamu olw’ebigendererwa byabwe ku bwabwe. Kale  waliwo abatayagala Bwakabaka tugambe ng’abo ababuggyawo n’abawagizi babwe.

Naye ate tulina abatabwagala naye nga beefuula ababwagala, buli lukedde wabaawo kyeboogera ku Bwakabaka nga baluubirira okumalamu abaganda amaanyi balekere awo okuyaayaanira Nnamulondo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agamba abantu bano beefula abalumwa Buganda naye nga ebigendererwa n’ebikolwa byabwe byakubusanyaawo era ne Nnyinimu bano yabalaba dda naalabula abantu be.

Abasabye okwegendereza abo abeefuula okumanya ebikwata ku Ssaabasajja Kabaka okusinga  abaana be, Katikkiro ne Baminisita Kabaka beyeelondera .

Owek. Mayiga Abaami abasabye okumanya ebituufu era babibuulire abantu babitegeere era bakuume obumu olwo basobole okumalako ebibasomooza.

Kulwa Minisita owa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Owek Israel Kazibwe Kitooke era Minisita w’Amawulire n’Okukunga asabye abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuwa ekitiibwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bwebalina.

Owek. Kazibwe bano abannyonnyodde nti wadde obukulembeze bubeera n’ebisomoozebwa naye bafube bulijjo okubeera eky’okulabirako kibayambe okukola obukulembeze obulungi era obulung’amu.

Abazadde abakubirizza okukomya okutiitiibya abaana nga babawa ebintu eby’ebbeeyi byebatasobola  baleme okubaggya ku mulamwa n’okugwa ku mabanja.

Bbo Abaami abakiise embuga beeyamye okukola buli kisoboka okukuuma abantu babwe nga bali bumu kiyambe okunyweza Nnamulondo ne Buganda okudda ku ntikko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist