Abakulembeze ba District ye Wakiso nga bakulembeddwamu Ssentebe Matia Lwanga Bwanika, banjulidde Katikkiro enteekateeka yaabwe Nnamutaayiika (physical Development Plan) ey’okuzimba n’okulaakulanya district ye Wakiso naddala ebifo omuli eby’obulambuzi eby’ennono, nga; Amasiro ge Wamala, Entebbe za Mugula n’ebirala.
Katikkiro yeebazizza Bwanika olw’okulwanirira obutonde bwensi naalaga okulumirwa eri abantu, ekintu ekiraga obwagazi n’okufaayo ku bebakulembera.
Okusinziira ku Ssentebe Matia Lwanga Bwanika, mu nteekateeka Nnamutaayiika ya Wakiso, erimu ensonga eziyinza okutambula obulungi nga bakwataganye n’obwakabaka.
Ensisinkano eno yetabiddwamu omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Oweek. Robert Waggwa Nsibirirwa era nga ye Minisita w’ebyensimbi n’enkulakulana mu Bwakabaka, Minisita w’ebyobuwangwa n’Obulambuzi mu Bwakabaka, Minisita wa Bulungibwansi oweek. Mariam Mayanja Nkalubo awamu n’abakungu abalala okuva ku district ye Wakiso ne mu bwa Kabaka era nga ebadde ku Bulange.