Bya Musasi waffe
Ttiimu y’omupiira eya Vipers SC ereese Omucongo Manzoki Cesar Loki agiyambeko okuginyeenyeza obutimba esobole okutwala liigi ya sizoni ejja eya 2020/2021.
Manzoki olwakkiriziddwa FIFA okuteeka omukono ku ndagaano y’emyaka ebiri ku Lwokuna akawungeezi, n’awera nti waakukozesa omukisa guno okwongera okutumbula ekitone kye.
“Ndi musanyufu okubeera wano,” Bw’atyo Manzoki bwe yategeezezza omutimbagano gwa Vipers.
Manzoki yagambye nti agenda kusinziira ku Vipers okutuukiriza ebirooto bye era ng’asuubira nti ajja kuweebwa omukisa okutandikirawo asobole okuyambako ttiimu eno okuwangula ebikopo nga agiteebera ggoolo.
Manzoki ow’emyaka 24, omupiira yagutandikira kkiraabu ya Dauphin Noir de Goma mu ggwanga lya Congo mu mwaka 2012, yeegatta ku TP Mazembe mu 2016 era nga bano yabazannyira sizoni ttaano nnamba.
Oluvannyuma yeegatta ku AS Vita Club eya Congo, n’abateebera ggoolo 38 mu mipiira 58. Manzoki ye muzannyi owoomukaaga eyeggase ku Vipers ng’abalala kuliko; Joseph Dhata, David Bagoole, Ibrahim Orit, Disan Galiwango ne Jamil Kaliisa.