Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Omuyimbi Veronica Nakiyingi, amanyiddwa ennyo nga “Vinka”, akiise embuga n’ategeeza Katikkiro ku nteekateeka z’ekivvulu ky’e “Live and Loud”, ekiriyo nga 21 Muwakanya ku Cricket Oval e Lugogo.

Bw’abadde akyadde embuga, Vinka agambye nti akimanyi bulungi Katikkiro agoberera nnyo ennyimba ze era y’ensonga lwaki azze okukiika embuga. Yebazizza obwakabaka okumuwagira mu kutumbula ekitone kye.
Mu bigambo bye eri omuyimbi ono, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti nga omuntu okukola omukolo ogw’amanyi ayita mu kweraliikirira okuyitirivu era muno mwajja obuvumu okukola ekirungi.
Yebazizza Vinka okuba omunyiikivu n’agamba nti ekintu kyonna okukikola n’okijjamu omwasi oba olina okulemerako, era ekisinga okulemesa abantu okukola ekirungi bwe butafaayo. Agamba nti okuyimba kutusanyusa naye ekisinga obukulu kwe kukimanya nti mulimo, tekikoma ku kusanyusa bantu kwokka.
Ku lulwe, Katikkiro agamba nti Vinka y’omu ku bayimbi abalina ennyimba ezisobola okusala ensalo okutuuka mu Nsi z’ebweru, n’olwekyo amusabye akole n’obukugu kimuyambe okunyweza ekitone kye. Era agamba nti bwetuyamba bannabitone kiyamba eggwanga okuyitimuka mu by’enfuna era kyongera essanyu mu mitima gy’Abantu nebagoba okukabiribwa.

Ku lwa Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza Vinka okulemerako okulaba nga ekitone kye kivaayo, ekintu ekizzaamu abavubuka amaanyi, era yebazizza Katikkiro olw’okufaayo eri abavubuka okumanya bye bakola ate n’abongeramu amaanyi.









