Bya URN
VG Somasekhar, abadde akulira kampuni y’essimu eya Airtel Uganda, ajjiddwa ku bukulu buno.
Ono wakuddeyo mu Biyindi naye nga wakusigala akola ne Bharti Airtel Group, nnanyini Airtel Uganda mu kifo ekyatayasanguddwa.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Raghunath Mandava, akulira Airtel Africa, Soma nga bwebadde ayitibwa, akoze kinene nnyo okuzimba kampuni ya Airtel mu Uganda naddala okubuyinsa enkola ya 4G yintaneeti okwetooloola eggwanga.
Ekiwandiiko era kyalaze nti Soma abadde muweereza mulungi eyambye ennyo kkampuni ya Airtel okukulira ku misinde egyayiriyiri.
Somasekhar yakomawo mu
Uganda mu 2017, oluvanyuma lw’okugikulirako wakati wa 2010 ne 2014.
Somasekhar yakola omulimu munene nnyo okutumbula kkampuni ya Airtel
Uganda eyali ekola loosi netandika okukola amagoba okusinga MTN Uganda.