
Bya Ssemakula John
Namirembe – Mmengo
Olukiiko lw’ Abalabirizi mu Kkanisa ya Uganda (House of Bishops)lulonze Venerable Canon Moses Banja ng’ Omulabirizi w’Obulabirizi bw’e Namirembe ow’omukaaga. Canon.Banja ye mulabirizi owo 6, azze mu bigere by’ Omulabirizi Wilberforce Kityo Luwalira agenda okuwummula oluvannyuma lw’okutuuka emyaka egiwummula.
Olukiiko lw’abalabirizi luno lutudde ku lutikko ya St. Stephen’s Cathedral e Naluwerere mu bulabirizi obujja obwa Busoga. Kati Rev.Banja wakutuuzibwa nga 10 December,2023 mu lutikko ya St.Paul e Namirembe.
Omwogezi w’ekkanisa ya Uganda Adams Sadiiki agambye nti enteekateeka z’okumutuuza essaawa yonna zitandika. Ven Canon Moses Banja yazaalibwa nga 20 October,1964 ku kyalo Nakabugo e Bbira mu Ssaza lya Ssabasajja Kabaka erye Busiro, mu bulabirizi bwe Namirembe.
Ono yayatula obulokozi nga 03 December, 1989. Yatuuzibwa ng’Imudiikoni mu 1996 nayawulibwa mu 1998. Rev Canon Moses Banja mufumbo ne maama Rev. Canon. Prof. Olivia Nassaka Banja, amyuka ssenkulu wa ssetendekero wa Ndejje era balina abaana 3.
Ven Canon Moses Banja alina obuyigirize bwa Degree mu by’eddiini okuva mu Makerere University, ne Post Graduate Diploma mu busomesa nayo ya Makerere University. Agenze okulondebwa ku bwa Bishop w’e Namirembe nga yaabadde akola nga ssabadiikoni we Luzira, mu bulabirizi bwe Namirembe.
Gyebuvuddeko olukiiko lw’abulabirizi lwasooka kugaana kuyisa erinnya lya Rev Canon Banja, oluvanyuma lwabamu ku bakulisitaayo okwemulugunya eri Saabalabirizi, nti okulondebwakwe kwalimu vvulugu. Nga 4 October,2023, waateekebwawo akakiiko ak’Abalabirizi 4 okwekeneenya ensonga eno.
Olukiiko olwateekebwawo lwali lukulirwa omulabirizi wa Northern Uganda, Rt Rev Johnson Gakumba, omulabirizi Michael Lubowa owa Central Buganda, Omulabirizi Patrick Wakula owa Central Busoga, n’omulabirizi owokubiri owe Kumi Rt Rev. Esakan Okwii, wamu ne chancellor w’ekkanisa ya Uganda, munnamateeka Naboth Muheebwa.
Alipoota y’akakiiko kano yayongedde okukakasa nti teewali vvulugu yenna mu kulondebwa kwa Rev. Canon Banja, era olukiiko lw’abalabirizi olwawamu kwerusinzidde okuyisa erinnya lye, ng’adda mu bigere by’Omulabirizi ow’okutaano ow’e Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira agenda okuwummula obuweereza nga 12 December,2023.
Rev Canon Banja Moses abadde avuganya ku kifo kino ne vicar wa lutikko ye Namirembe, Rev Canon Abraham Muyinda.









