Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekisolooza omusolo ekya ‘Uganda Revenue Authority (URA)’ kiwaddeyo obuyinza obuwandiisi emmotoka eziyingira eggwanga eri Minisitule y’ebyenguudo n’entambula.
Bw’abadde awaayo obuvunaanyizibwa eri Minisita w’ebyentambula n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala, akulira ekitongole kya URA, John Musinguzi ategeezezza nti babadde bazitoowereddwa emirimu, naddala okulondoola emmotoka ezitalina nnamba puleeti, n’okuyingiranga mu mirimu gy’ebitongole ebirala ate ng’omulimu ogwabwe ogubaweebwa Ssemateeka gwa kusolooza musolo.
Okusinziira ku Musinguzi, babadde bakola omulimu guno okuva mu 1991 ekitongole kino lwe kyatandikibwawo nga bamaze emyaka egiwera 30 nga be bagaba ennamba n’okuwandiisa emmotoka eziyingira ezireetebwa mu ggwanga n’ezo ezitalina kubeera ku nguudo.
Minisita w’ebyentambula n’emirimu, Gen. Edward Katumba Wamala, agamba nti ng’oggyeeko okuwewula ku URA emirimu egimu, kino kigendereddwamu kwongera kunyweza byakwerinda bya ggwanga.
Agumizza bannayuganda naddala abo abayinza okwekengera olw’okulondoola emmotoka zaabwe, n’ategeeza nti si baakulondoola gye batambulira wabula emmotoka gye zibeera.
Okukyusa obuvunaanyizibwa buno kiddiridde etteeka eryayisibwa mu 2018 erya ‘Traffic and Road Safety Act’ nga liggya obuyinza bw’okuwandiisa emmotoka zino Ku URA.
Omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyentambula n’emirimu, Barbra Namugambe annyonnyodde nti minisitule yandibadde yezza dda obuvunanyizibwa buno ng’etteeka bwe liragira wabula omuggalo, gwe gwazing’amya enteekateeka zonna.
Olupapula omuntu lw’abadde alina okutambula nalwo olwogera ku mmotoka ye n’ebimwogerako, Minisita Edward Katumba Wamala akakasizza nga nalwo bwe lukyusiddwa, ng’omuntu kati waakubeeranga na kaadi entonotono ate nga ya tekinologiya.