Bya URN
Ekitongole ekikola kukunganya omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority [URA] kyalemereddwa okukunganya obuwumbi 697.4 ze kyalina okukunganya okuva mu mwezi g’omusanvu [guyite Kasambula] omwaka oguwedde okutuuka mu ggw’ekkumi n’ebiri, [guyite Ntenvu.]
Doris Akol, akulira ekitongole kino yategeezezza bannamawulire kukitebe kya URA mu Kampala nti baasobola okukunganya obutabalika mwenda bwokka kyokka nga baali basuubira obutabalika mwenda n’obuwumbi 700. Newankubadde nga essente ezaasuubirwa sizeezaakunganyizibwa, ekitongole kino kisobodde okufuna ssente ebitundu 11.2 % okusinga omwaka oguwedde.
Amawulire gano tegasanyusa gavumenti naddala mu kaseera kano nga essente okuva mu bagabi b’obuyambi zigenda zikendeera. Kino kitegeeza nti ebintu ebimu gavumenti byebadde egenda okukola tegenda kusobola kubutuukiriza.
Gavumenti gyebuvuddeko yategeeza nti singa tefuna sente zeyeetaaga, yandiwalirizibwa okwewola ssente okuva mu zibbanka munda w’eggwanga.
Ekitongole kyensi yonna ekirondoola eby’enfuna ekya International Monetary Fund kyalaga nti eby’enfuna by’eggwanga tebijja kukula nga bwebibadde bisuubirwa omwaka guno olwa gavumenti okulemererwa okufuna ssente okutuukiriza ebyo byebassa mu mbalirira.