Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekiwooza omusolo ekya ‘Uganda Revenue Authority (URA)’ kiwadde omuyimbi Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine emmotoka ye gye kyali kyawamba olw’omusolo.
Aba URA bategeezezza nti kino bakikoledde ku biragiro bya Pulezidenti Yoweri Museveni era y’abalagidde okuzzaayo emmotoka eno.
Ekitongole kya URA kyawamba emmotoka eno mu April oluvannyuma lwa kkooti okubakkiriza okuddamu okugyekebejja olw’ebigambibwa nti waliwo emisolo egyali gitasasuddwa.
Eggulo ku Lwokubiri, omu Ku bannamateeka ba Kyagulanyi, Anthony Wameli, yategeezezza nti aba URA baabategeezezza nga Pulezidenti Museveni bwe yabalagidde okubaddiza emmotoka eno.
“Tubategeezezza nti tufunye ekiragiro okuva ewa Pulezidenti wa Uganda ng’alagira URA okuddiza emmotoka eno nnyini yo mu bwangu.” Ssenkulu wa URA, John Musinguzi Rujoki bw’ategeezezza mu bbaluwa.
Musinguzi agamba nti olw’okuba nnannyini mmotoka eno yali yasaba emisolo gyayo okuddamu okwekenneenyezebwa, kati ebbanja erisigaddeyo lya bukadde 240 era nga zibangibwa Kyagulanyi.
Kyagulanyi atabukira Museveni
Bino olugudde mu matu ga Bobi Wine n’atabukira Pulezidenti Museveni okwezza obuyinza bwonna mu ggwanga n’ategeeza nti talina tteeka lyonna mw’asinzidde kumuddiza mmotoka eno era nga n’okugiwamba bwe gwali.
Kyagulanyi ategeezezza bannamawulire ku Lwokubiri nti bw’aba Museveni ayagala kukozesa kino okumugulirira alabye kuba tekigenda kusoboka.
Ono eyavuganya mu kalulu ka 2021 ak’obwapulezidenti agamba nti kino Museveni akikoze kugula buganzi mu bantu awamu n’okubaggya ku mulamwa gw’okubanja bannabyabufuzi abaasibwa, naye n’awera okusigala ku nsonga kubanga eddembe lyabwe kikulu nnyo okusinga ensonga yonna endala.