Bya Stephen Kulubasi.
Omuloodi wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, avuddeyo n’ategeeza ng’eggye lya Uganda erya UPDF bwe litakyali ggye eriweereza abantu ba Uganda wabula Pulezidenti Museveni ng’omuntu. Bino abyogeredde ku mukutu gwa ttivvi ogumu bw’abadde akyaziddwa mu Pulogulaamu y’okumakya.
Lukwago yagambye mbu amagye gateekeddwa okukolagana n’abantu baabulijjo mu biseera byakazzigizzigi naye sikwenyigira mu bitabakwatako ng’ebyobufuzi.
Lukwago era ategeezezza mbu abakulu mu magye abasinga obungi basibuka mu kitundu ky’eggwanga kimu ne yeewuunya oba eggye likyali lya ggwanga. “Eky’amazima olwaleero eggye lye tulina lya muntu ssekinnoomu. Kano kabondo k’abayeekera Gen. Museveni ke yeekomya. Bakyeyisa mu ngeri y’ekiyeekera.” Lukwago bw’ategeezezza.
Ng’amagye geetegekera okujaguza okuweza emyaka 40, Lukwago agambye mbu tewali kye bajaguza okuggyako obuzzi bw’emisango n’okulya mu nsi olukwe kubanga amagye galudde nga galumba abantu.
Wabula akiikirira amagye mu lukiiko lw’eggwanga olukulu,Brig. Felix Kulayigye, akkaatirizza nti eggye likyali lya ggwanga era n’ategeeza mbu emikolo gya Tarehe Sita gisaanidde okukuzibwa wadde abantu nga Lukwago basobola okugenda ku mikutu gy’amawulire ne boogera bye baagala. “Omulimu omukulu ogw’abooludda oluvuganya gwa kusuula gavumenti ate be boogera buli lunaku. Ffe tukkiriza nti ebikolwa bisinga ebigambo.” Kulayigye bw’agambye.