Bya Ssemakula John
Kampala
Eggye lya UPDF lirabudde basajja baalyo abagambibwa okukola akuvuyo eggulo ku Mmande ng’eggwanga likuba akalulu k’obwammeeya ne bassentebe ba LC III awamu ne bakkansala ku ggombolola.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Gen Flavia Byekwaso yategeezezza nti ebikolwa bya bajaasi okwenyigira mu by’obufuzi byalabiddwako mu bitundu bya Kampala ne Wakiso, ekintu ekitattana ekifaananyi kya UPDF.
“Sirowooza nti mulimu gw’amagye okuggya ku beegenti b’abeesimbyewo enkalala z’abalonzi, tuli mu kunoonyereza kuba bano tebalina kwenyigira mu byabufuzi.” Byekwaso bwe yalambudde.
Okwogera bino, Byekwaso yabadde ayanukula ebibuuzo ku bigambibwa nti abajaasi e Ntebe baalagidde beegenti okuvaawo era okulonda kw’agenze mu maaso nga tewali bakulondoola.
Mmeeya w’e Ntebe, Vincent Kayanja De Paul, yategeezezza nti mu bifo nga Banga- Nakiwogo ne Calvary Chapel, abajaasi baafuuse ekizibu.
“Tulina okusoomoozebwa mu bifo awalonderwa ebirimu abajaasi nga nabo balonzi. Abajaasi bano balinnyirira eddembe ly’abeesimbyewo wamu ne beegenti baabwe.” Mmeeya Kayanja ayagala okweddiza ekifo kye bwe yagambye.
Mu kitundu ky’e Makindye, abatuuze baalumirizza abajaasi okugobawo bannamawulire, beegenti b’abeesimbyewo wamu n’abaabadde bayambako abalondesa nga baagala okubbira Julius Mukanga Kabiswa akalulu.
Ate e Naguru kyatabuse, abapoliisi n’abajaasi kigambibwa nti baalumbye ebifo awalonderwa ne balagira beegenti okuvaawo nga baagala okubba akalulu.
Ku nsonga eno, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti baliko be baakutte ku bigambibwa nti baabadde bagulirira abalonzi n’ababba akalulu. Wabula teyannyonnyodde oba baabadde ba byakwerinda.