Bya Ssemakula John
Kampala
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda Examinations Board (UNEB), kifulumizza enteekateeka y’okutuula ebibuuzo ey’ebibiina ebyakamalirizo eri abayizi ba Pulayimale ne Ssekendule.
Akulira ekitongole kya UNEB, Dan Odongo, abuulidde bannamawulire nti ebibuuzo bigenda kukolebwa omwezi ogujja era bino bya mwaka gw’ebyensoma ogwa 2020 ebyali byayongezebwayo olwa Ssennyiga Corona ekyawaliriza abayizi okudda ewaka.
Okusinziira ku Odongo, aba P.7 (PLE) baakukola ebibuuzo wakati wa 30 ne 31 March ate aba S.4 (UCE) bakole ebibuuzo nga 1 March okutuuka nga 6 April. Bo aba S.6 (UACE) batuule wakati wa 12 April ne 3 May 2020.
Odongo ategeezezza nti olwa COVID-19 ebibuuzo by’omulundi guno bigenda kukolebwa mu ngeri ya njawulo okusobola okukuuma abayizi, abakuuma ebigezo ne poliisi ku kirwadde kino.
Ono agamba nti wadde abayizi balina okwambala obukookolo, okunaaba n’eddagala eritangira Corona naye era bajja kusooka kukeberebwa bbugumu lya mubiri nga tebannayingira kukola bibuuzo.
“Twagala abantu bonna abali mu nteekateeka eno bakuumibwe, noolwekyo tugenda kugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Corona ebyatuweebwa abaminisitule y’ebyobulamu.” Odongo bw’annyonnyodde. Odongo asabye abakulira amasomero okukkiriza abayizi bonna n’abatannaba kumalayo bisale bya ssomero nabo basobole obutafiirwa.