• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

UNEB: 7000 bagudde PLE, 2220 bikwatiddwa

Gambuuze by Gambuuze
July 16, 2021
in Amawulire
0 0
0
UNEB: 7000 bagudde PLE, 2220 bikwatiddwa
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya ‘Uganda  National Examination Board (UNEB)’ kitegeezezza nti  ebivudde mu bigezo by’abayizi abawera 2220, bikwatiddwa olw’okwenyigira mu mize egy’okukoppa era nga bino bakuddamu okubyetegereza.

Bino byogeddwa akulira ekitongole kya UNEB, bw’abadde  awaayo ebyavudde mu kugolola ebibuuzo by’ekibiina eky’omusanvu  eby’omwaka 2020 mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe ku Lwokutaano.

“Ng’esinziira mu kawaayiro nnamba  5(2b)  ak’etteeka lya UNEB Act, ekitongole kikutte ebigezo by’abayizi  2220  ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Amasomero gannannyini bigezo bino gazza kutegeezebwa nga tuyita mu balambuzi b’amasomero ku disitulikiti era amasomero gano gajja kuwaayo okwewozaako kwago.”  Bw’atyo akulira UNEB Dan Odongo bw’agambye.

Okusinziira ku Odongo amasomero agasinze okubeera n’abayizi ebibuuzo byabwe ebikwatiddwa okusinga g’e Kasese ne Bundibugyo n’ekitundu ky’ensozi za Rwenzori.

Omuwendo gw’ebibuuzo by’abayizi ebikwatiddwa gweyongedde ne gutuuka ku 2220 okuva ku 1512 ebyakwatibwa omwaka oguwedde so nga mu 2018 ebyakwatibwa byali 3500.

Odongo agamba nti abo bonna abeenyigira mu kubba ebibuuzo, bagenda kukolwako ng’amateeka bwe galagira.

Bino we bijjidde ng’etteeka eppya erya UNEB 2021 lyakamala okuyisibwa Palamenti okusobola okukola ennongoosereza mu tteeka lya 1983 eribaddewo era lino liwa ekibonerezo ekikambwe eri abayizi abakwatibwa mu kubba ebibuuzo.

Emisango egivunaanibwa gyeyongera mu tteeka lino okuva ku 7 egyaliwo ne gituuka ku 13 era mulimu engassi wamu n’okusibwa wakati w’emyezi 6 n’okutuuka ku myaka 5.

Mu tteeka lino, singa omuyizi akwatibwa ng’abba ebigezo ne gumusinga, asobola okusibwa emyaka 5 oba okuwa engassi ya bukadde 40 oba byombi.

70000 bagudde

Ebifulumiziddwa era biraze ng’abayizi 74,878 bwe baagwa n’enkoona n’enywa  era nga balina kukola kimu kuddamu kibiina bwe baba baagala okweyongerayo.

Bano bakola ebitundu 10.2 ku buli 100 ku muwendo gw’abayizi bonna abatuula PLE mu 2020.

Abayizi abawera  749,761 be baatuula ebibuuzo bino  ebya 2020 okuva mu bifo ebituulirwamu  14,300 bwogeraageranya n’abayizi  695,804 abatuula mu 2019.

Ku muwendo guno 513,085 (68.4%) baava mu bonnabasome ‘Universal Primary Education (UPE)’ ate  236,677 (31.6%)  baali mu ga bwannannyini.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.