
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ekitongole ky’ Ensi yonna ekirwanyisa ekirwadde kya Mukenenya kitendereza engeri Obwakabaka gyebusobodde okukozesa Obuwangwa n’Ennono okumala akawuka kano amaanyi.
Bino bibadde mu alipoota ekwata ku mulimu Ssaaabasajja Kabaka gweyatuma Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo okulaga ensi yonna engeri Buganda gyekozesezaamu ebika, ennono n’obuwangwa okulwanyisa akawuka kano.
Bw’abadde akwasibwa alipoota eno okuva ew’ akulira ekitongole ki UNAIDS mu Uganda, Jacqueline Makokha mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu, Owek. Kaawaase ategeezezza nti basanyufu nebiri mu alipoota eno kuba omulimu baagukola bulungi.
“Ebyavaamu biraga nti baali basanyufu byansuso okulaba engeri Obwakabaka bwa Buganda gyebukozesaamu obuwangwa n’ennono okulwanyisa Mukenenya era bangi beesunga okuyigira ku ffe okulaba nti nabo bakoppa byetukola,” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.
Owek. Kaawaase agasseeko nti aba UNAIDS bawadde obweyamo bwa myaka emirala esatu nga batambula ne Buganda ku nsonga eno era babanoonyezeeyo ebitongole ebirala byebalinako enkizo mu mawanga ag’enjawulo okuggusa ensonga eno.

Akulira UNAIDS mu Uganda, Jacqueline Makokha ategezezza nti omukago guno gumaze ekiseera era bingi ebiguvuddemu era enkolagana eno y’ensonga lwaki
akawuka kano kakendedde ebitundu 54 ku buli 100 mu Bwakabaka bwa Buganda.
Ono annyonnyodde nti buli mwaka bavaayo nebakwatagana ne Buganda mu misinde gy’Amazaalibwa okulaba nti bakunga abaami okukulemberamu
olutalo lw’okumalawo akawuka kano nga neguno omwaka bwekigenda okubeera.
Makokha alambuludde nti nga bakolagana ne Buganda basobodde okutuuka wansi ku muntu asinga okutawaanyizibwa ekirwadde kino bwatyo neyeebaza
Buganda olw’omulimu omulungi ogukoleddwa naddala mu bizinga bye Kalangala ne Ssese.

Ye minisita avunaanyizibwa ku by’obulamu mu Buganda ategeezezza nti omukago guno gubadde nsonga nnyo okulwanyisa ekirwadde kino era nategeeza nti Omutanda yasiimye neku mazaalibwa g’omulundi guno omulamwa gubeere ku Mukenenya.









