Bya Gerald Mulindwa
Mengo
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, ategeezezza nga bwewaliwo obwetaavu Uganda okufuna enfuga ya Federo kiyambe ebitundu ebimu okwekolera ku bizibu byabyo mu bwangu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Katikkiro-Mayiga-1024x683.jpg)
Okwogera bino Mukuumaddamula yabadde ku ttendekero lya Buganda Royal Institute e Mengo mu Kampala ku Mmande nga aggulawo Olusirika lw’Olukiiko lwa Buganda olw’omwaka guno.
“Nze sirabawa mutawaana ab’e Busoga bwebekolera ku nsonga zabwe nga ebyenjigiriza, ebyobulamu nze sirabawo. N’okugaba obukookolo, Ssebo gavumenti esinziire e Kampala egabe obukookolo e Masaba, bunatuuka. Waliyo ettaka libumbulukuka eyo e Buduuda, bwetuteekayo gavumenti eyamanyi oludda eyo tesobola kukola kwebyo?” Mayiga bweyabuuzizza.
Mayiga yategeezezza nti eno yengeri yokka ebintu nga ebibira gyebisobola okukuumibwa wamu n’okukola ku bizibu ebiruma abantu mu bitundu ebyenjawulo.
“Singa nalina obuyinza wandibaddewo omuntu azimba mu lutobazi mbu munnamakolero, tewali gwenaganyiza kuzimba mu ntobazi ntino musigansimbi,” Katikkiro bweyalambuludde.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Abaa-1024x683.jpg)
Katikkiro yasabye abantu okukuuma ettaka lyabwe nga bwekirambikiddwa mu nsonga Ssemasonga za Buganda ettaano.
Katikkiro yategezezza nti, okuzza Buganda ku ntikko gulina kubeera mulimu gwa bantu bonna ssi balondemu kubanga Bulange kitebe ekigatta abantu bonna era bfa tewali alinawo buzaale.
“Okuzza Buganda ku ntikko, ssi mulimu gwabe Mengo, buli omu waali alina ettofaali lyalina okusaako. Ab’e Mengo be baani, abantu nze bagamba banzaala Kasanje ggombolola Ssabawaali Bukoto mu Buddu, eno ndi ku kyeyo nasomoka Lwera ssiri we Mengo,”Bwatyo Mayiga bweyategeezezza.
Yasabye abantu okukolera awamu balwanyise obwavu nalambulula nti, eno y’ensonga lwaki baleeta puloojeekiti y’Emmwanyi Terimba era nabakuutira okukuuma ettaka kubanga lino lyelituulako obutaka bw’ebika bya Baganda eby’enjawulo.
“Bwetutakuuma ttaka ennono ejja kusabulukukuka,” Mayiga bweyagambye.
Katikkiro Mayiga yanyonyodde nti, buli lwe bakungaana mu nteekateeka y’Olusirika ekigendererwa kyabwe kibeera kya kuwangana magezi n’okulaba engeri gyebasobola okutambuliza awamu emirimu kiyambe Buganda okugenda mu maaso.
Mayiga yalambise ababadde mu lusirika ku mirimu egy’enjawulo egyakolebwanga abantu abenjawulo okuli; Abataka, abasiige n’abaami wabula nga mu byonna banoonyangamu kya kunywezza Buganda n’okutaasa Nnamuswa Kabaka.