Bya Ssemakula John
Kampala
Kabbineeti ekkiriza gavumenti okuzimba enguudo bbiri mu ggwanga lya Dr. Congo kiyambeko okwanguya entambula n’ensuubuligana wakati w’amawanga gombi.
Okusinziira ku bakulu kino kigenda kwanguya okutambuza ebyamaguzi wamu n’abantu era n’ebyokwerinda wakati wa bannansi abali mu nsi zino, kitumbule eby’enfuna.
Wiiki eno, Pulezidenti Museveni ne Felix Tshisekedi akulembera Congo, baatadde omukono ku ndagaano okuggumiza ensonga eno mu lukung’aana lw’ebyenfuna wakati w’amawanga gombi olwayindidde e Munyonyo mu Kampala, okwongera okutumbula eby’enkulaakulana, ebyobulambuzi wamu n’ebyokwerinda.
Minisita w’ensonga z’ebweru, Sam Kuteesa, ye yataddeko omukono ku ndagaano eno ku lwa Uganda ate nga ku lwa Congo yabadde amyuka Ssaabaminisita era Minisita w’ebyamateeka Celestine Tund.
Kinajjukirwa nti, omwaka oguwedde, Uganda yatuuka ku nzikiriziganya ne Congo okuzimba enguudo eziwerako kkiromita 1,200.
Enteekateeka eno erimu kkiromita 24 ez’oluguudo lwa Bunagana – Goma okutuuka e Rutshuru mu Congo, kkiromita endala 977 okuva ku nsalo y’e Mpondwe okutuuka e Beni mu Dr. Congo awamu ne kkiromita 180 okuva e Goli mu Uganda okutuuka e Beni.
Okusinziira ku bakulu, obwetaavu bw’enguudo zino bwayongera okweyoleka omwaka oguwedde oluvannyuma lwa Rwanda okuggala ensalo zaayo ne Uganda ng’egirumiriza okuyisa obubi bannansi baayo wamu n’okubudamya abaagala okugirwanyisa.
Olw’okuggala ensalo, kyasannyalaza entambula y’ebyamaguzi era ebimotoka ebyali bigenda e Congo naye nga birina kuyita mu Rwanda byalabibwako nga bikonkomalidde ku nsalo