Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti eggwanga litambula bulungi awatali mukutu mugattabantu ogwa Facebook.
“Eggulo limu nakebedde okulaba oba amatooke bakyagalima. Nalowooza nti facebook bweteggulwe amatooke gajja kulekera awo okulimwa. Era nakebedde nenkizuula ng’ente zaffe zikyatuwa amata era n’ebyennyanja mu nnyanja zaffe bikyaliyo mu nnyanja,” Museveni bw’ategeezezza ku Lwokusatu bw’abadde asiima abaddusi Chemutai, Cheptegei awamu n’abalala, olw’okuleetera Uganda emidaali mu mpaka za Olympics 2020.
Museveni annyonnyodde nti eggwanga lisobola bulungi okubeerawo awatali mukutu guno era bannansi tebalina kubeera nakutya kwonna ku nsonga eno.
Okusinziira ku Museveni, Facebook yaggalwa ng’eggwanga ligenda mu kalulu ka 2021 era okuva olwo tewali kyali kikyuse mu ggwanga.
Kino kireeseewo okutya ng’omukutu guno bwe guyinza okuba nga gwawerebwa mu ggwanga kuba bangi babadde basuubira nti oluvannyuma lw’akalulu okuggwa, gujja kuggulwa naye si bwekiri.
Bannayuganda abakyali ku mukutu guno balina kuyita mu nkola ya Virtual Private Networks(VPNs) kuba tosobola kugufuna nga togyeyambisizza.
Wabula abakugu bakyagenda mu maaso n’okulabula gavumenti okuggula omukutu guno esobozese bannansi okutunda eby’amaguzi ne ggwanga lyabwe.
Ate ye munnamateeka Godwin Toko, yagambye nti okuggala omukutu guno kiremesa bannayuganda okutabagana era kino kibamalako eddembe lyabwe.