Bya Ssemakula John
Entebbe
Kkampuni ya Uganda Airlines etuusizza ennyonyi endala eya Airbus ey’ekika kya AA330-800neo, nga kati Uganda eweza ennyonyi ekika kino bbiri nga eyasooka yaleetebwa mu mwezi gwa Decemba 2020.
Okusinziira ku bakulu mu Uganda Airlines, kino kigenda kuyamba kkampuni eno okutambula eng’uudo empavu. Bano bategeezezza nti ennyonyi zino zigenda kuyamba okugatta ekisaawe kya Entebbe International Airport eri Ssemazinga endala okuli; Asia, Bulaaya wamu n’ekyombo kya Buwarabu.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Gen. Katumba Wamala agambye nti Uganda Airlines ya gavumenti ya Uganda 100 ku 100 era n’alabula abasaasaanya eng’ambo nti Uganda erina emigabo gya bitundu 0.2%.
Abakugu bagamba nti ennyonyi eneetandika okugenda e Dubai, London ne China kuba bingi ebigatta Uganda n’ebitundu bino. Dubai emanyiddwa nnyo mu by’obusuubuzi, okuwa abantu emirimu wamu n’ebyobulambuzi era abantu bangi abettanira okugenda mu kitundu kino.
Abakulira kkampuni eno bannyonnyodde nti bannayuganda abakolera mu kyondo ky’Abawarabu, bafunye omukisa okukozesa ennyonyi y’eggwanga lyabwe okugenda mu kyombo kya Buwarabu kuba bonna balina kuyita Dubai.
Olugendo lwa China lwe lumu ku ezo ezeesungibwa bannayuganda naddala abasuubuzi abatambulira mu mawanga gano. Ennyonyi y’ekika kino ewezezza omuwendo gw’ennyonyi Uganda z’erina nga kati ziri mukaaga, kuno kuliko endala nnya ez’ekika kya CRJ9OO.