![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/03/Eddy.jpg)
Bya URN
Akakiiko akakola ku kulwanyisa siriimu aka Uganda Aids Commission kasabye palamenti ebongere obuwumbi 16 okusobola okulwanyisa siriimu ali mukweyongera.
Okusinziira ku Eddy Mukooyo akulira akakiiko kano, waliyo abantu 53,000 abapya abalina siriimu nga kino kitegeeza bwetunaatuukira mu mwaka 2025, bantu 300,000 abaggya bajja kuba balina siriimu.
Mukooyo yabadde ayogereko eri ababaka ba palamenti ku wooteeri ya Golf View Entebbe
eggulo.
Yagambye nti okweyongera kw’abantu abalina siriimu kweraliikiriza kubanga
gavumenti ejja kuba yeetaaga obuwumbi 246 okusobola okukuumira ku ddagala
abantu abalina siriimu.
Yategeezezz
ababaka nti singa babongera ssente zino, bajja kusobola okukendeeza ku muwendo
gw’abantu abakwatibwa siriimu.
Ssentebe w’ekibiina ky’abantu abalina siriimu ekya National Forum for People
Living with HIV Network in Uganda , Dr Stephen Watiti yagambye nti beetaaga essente
okwongera amanyi mu kaweefube w’okutegeeza abantu abalina akawuka okwekuumira
kuddagala wamu n’okugenda mu malwaliro okufuna obujjanjabi.
“Gavumenti eteekeddwa okussa essira mu kujjanjaba abantu. Tukirabye nga
bakikola mu bakyala abalina embuto era bano tebakyasobola kuzaala baana balina
siriimu bwebamira eddagala lyabwe obulungi,” Watiti bweyagambye.
Ababaka bagambye nti kyennyamiza nti eggwanga litandise obuteefiirayo
ekiviiriddeko obulwadde okuddamu okwegiriisa.