Bya Gladys Nanyombi
Kampala
Munnamateeka Ivan Bwowe atutte ekitongole ekirungamya eby’empuliziganya ki ‘Uganda Communications Commission (UCC)’ mu kkooti ng’ entabwe evudde ku kulagira abafulumya amawulire n’obubaka okwewandiisa bafune layisinsi kyagamba nti kikyamu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Ivan-Bwowe-1024x683.jpg)
UCC yalagidde abakozesa omutimbagano okufulumya amawulire okwewandiisa nga olwa 5/10/2020 terunatuuka basobole okufuna layisinsi ebakkiriza okukola omulimu guno.
Mu musango gwawaabye mu kkooti enkulu wano mu Kampala, Bwowe agamba ekikolwa kya UCC okulagira abafulumya amawulire n’obubaka ku mutimbagano okwewandiisa kimenya ssemateeeka nasaba kkooti ekisazzeemu mu bwangu.
Bwowe yanyonyodde nti emikutu gyonna UCC gyeyogerako okuli; Facebook, Twitter, YouTube n’emirala girina amateeka abagikozesa gebalina okugoberera nga tekyetaaga UCC kuddamu giteekako mateeka malala.
Kati Bwowe ayagala kkooti erangirire nti ekiragiro kino kikyamu era tekirina kuteekebwa mu nkola.
Sabiiti eno, UCC yavaayo netegeeza nga abalina okwewandisa okufuna layisinsi bwekuliko; abakozesa ttivi z’omutimbagano, laadityo z’okumutimbagano, abateekako amaloboozi n’abalala abali mukiti ekyo.
Ebibiina bya bannakyewa okuli Amnesty International bavuddeyo nebavumirirwa ebiragiro bino nga bagamba nti byaleeteddwa kwongera kukugira ddembe lya bannayuganda ery’ okweyogerera.