Bya Miiro Shafik
Nakiwogo – Busiro
Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule bw’abadde ku mwalo e Nakiwogo ewabadde mpaka z’Amaato ga Buganda ez’oluvvunkana olw’okubiri omwaka guno, ategeezeza nti omuzannyo gw’Amaato gwakuyamba nnyo mu kukulaakulanya ebitundu ebiri ku mbalama z’ennyanja kubanga zisikiriza abalambuzi, ne zigatta abantu b’okukitundu ate nga kimanyiddwa bulungi nti giyambako n’okukuuma emibiri nga gikola bulungi naddala eri abo abagyetabamu obutereevu.
Oweek. Mugumbule nga yaakiikiridde Katikkiro Mayiga mu nteekateeka eno era yeebazizza abategesi b’Empaka olw’omutindo kwe bazitadde era agamba nti omuzannyo gw’amaato gwakwongera okusituka, olwo zongere n’okukuuma abantu okwenyigira mu bintu eby’omugaso obutenyigira mu mize.
Minisita Robert Serwanga Ssaalongo ow’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone yeebaziza nnyo abantu olw’okujjumbira okuwagira empaka z’amaato era agamba nti kino kyongera okulaga nti omuzannyo guno guzzemu okufuna ettutumu, era asuubiza nti bakwongera okugunnyikiza nga n’okusookera ddala okufuba okulaba nga buli Ssaza lyetaba mu mpaka ez’akamalirizo omwaka guno ezinaabeerawo nga 24/08/2024.
Oweek. Serwanga agamba nti empaka zino ziwa Abavubuka omukisa okwolesa obumanyi n’obusobozi bwe balina, okutumbula ebitone byabwe ate nga bwe bawangula n’ebirabo.
Empaka ezasooka zaali Bunjako – Mawokota, leero zibadde Nakiwogo – Busiro ate ez’akamalirizo zijja kubeera ku Busaabala Beach.Empaka zibaddemu emitendera ebiri, mita 1000 ne 500 era nga mu mu mita 1000, essaza Mawokota lye likize ku malala, ne liddirirwa Buddu mu ky’okubiri ne Buvuma mu ky’okusatu. Mu mita 500, Busiro y’esinze, n’eddirirwa Buddu mu ky’okubiri olwo Mawokota wano n’ekwata eky’okusatu.
Mu babaddewo okulaba n’okunyumirwa empaka zino kubaddeko ababaka ba Paalamenti; Hon. Michael Mbwatekamwa n’owa Ntenjeru South, Hon. Patrick Nsanja wamu n’Oweek. Dr. Stephen Seruyange Omumyuka wa Ssebwana, n’abantu abalala.