Bya Musasi Waffe
Kampala

Minisita w’ebyentambula mu ggwanga Gen. Katumba Wamala ategeezezza ku Mmande nti bayinza okuddamu okuyimirizza entambula y’olukale okugezaako okutangira okusaasaana kw’ ekirwadde ki COVID19.
“Bannayuganda bannange, tukizudde nga abamu ku bavuzi ba takisi ne bodaboda tebakyagoberera biragiro bitangira COVID19 nga bwebali balagiddwa,“ Minisita Katumba Wamala byeyanyonyodde.
Katumba yagasseeko nti olw’okuba buli lukya abakwatibwa obulwadde buno beeyongera ekiyinza okubawaliriza okuyimirizza entambula ey’olukale mu ngeri y’okuziyizza ekirwadde okutambuzibwa.
Ono yategeezezza nti abavuzi ba takisi batikka abantu abasoba mu munaana abali bakkirizibwa ekintu ekiteeka obulamu bwa abasaabaze mu bulabe.
Kinajjukirwa nti, abavuzi ba takisi balagirwa okwambala obukookolo era basabe abasaabaze okwewa amabanga n’okukuozesa eddagala eritta akawuka n’okunaaba mu ngalo nga bayingira ekintu kyebatafuddeko.
Webutuukidde olwa leero nga abalina ekirwadde kino baweze 1500 oluvanyuma lw’okuzuulayo abalwadde abalala 66 kwabo abaakebeddwa nga 15/08/2020








