
Musasi waffe
Munnamajje Lt. Gen. Henry Tumukunde olwaleero ekisula waakukikwatira mu kawome e Luzira gyasindikiddwa kkooti ento etuula ku KCCA.
Ono yakwatibwa wiiki ewedde ku misango gy’okulya munsi olukwe.
Wiiki nga ssatu eziyise, Tumukunde yalangirira nti yali agenda kuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga omwaka ogujja.
Kigambibwa mbu nga ali ku leediyo ne TV ez’enjawulo, Tumukunde yasaba eggwanga ly’e Rwanda okuyambako Uganda okujjako Pulezidenti Museveni eyakafugira eggwanga emyka 34.
Ono era avunaaniddwa omusango omulala ogw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka.
Waakudda nga March 30 okusomerwa emisango gye.








