Bya Ssemakula John
Kampala
Alina kkaadi ya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, afulumizza oluyimba n’asaba abalonzi okulonda mu bungi nga January 14, basobole okweggyako Pulezidenti Yoweri Museveni.
Mu luyimba Kyagulanyi lw’atuumye “Tulonde” agamba nti eno y’engeri yokka esoboka mu kiseera kino okusobola okumamulako Pulezidenti Museveni afuze eggwanga lino emyaka egisoba mu 35. “Okuva mu Novemba omwaka oguwedde babadde batuyigga. Aba SFC baatandikirawo okutulumba nga twakeewandiisa era olugendo lwaffe lubadde lwa ttiyaggaasi n’amasasi. Bangi ku bannaffe bafudde Nubian Li ne balala bali mu kkomera, okumaliriza kino tulina kulonda.” Wine bwe yategeezezza mu luyimba.
Kyagulanyi yagambye nti oluyimba buno bubaka eri buli muntu eyeewandiisa okugenda alonde kuba gavumenti ya Pulezidenti Museveni teyeetaaga kuwa mukisa mulala.
“Omusana bwegwaka, mumanye Manvuuli w’eri, bw’etonnya Manvuuli w’eri era mulonde Manvuuli.” Kyagulanyi bwe yagasseeko.
Manvuuli ke kabonero akatongole ak’ekibiina kya National Unity Platform ke bakozesa mu kalulu kano.
Bwe yabadde ayogera ku luyimba luno, Kyagulanyi yagambye nti aluwaddeyo eri munywanyi we, Nubian Li awamu n’abalala abali mu makomera.
Okuva lwe yalaga nti agenda kesimbawo avuganye Pulezidenti Museveni mu 2018, Kyagulanyi azze akunga bannayuganda okuvaayo mu bungi balonde era nga y’omu ku abaasaba bannayuganda okwewandiisa bafune endagamuntu ezinaabayamba okwetaba mu kalulu kano.