• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Tulina okulambika ebiseera bya Buganda eby’omu maaso – Owek. Kaawaase

Gambuuze by Gambuuze
October 12, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Tulina okulambika ebiseera bya Buganda eby’omu maaso – Owek. Kaawaase
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gladys Nanyombi

Kampala

Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w’Obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, ategeezezza nti balina omulimu okulambika ebiseera bya Buganda eby’omu maaso wamu n’okulaba nga batuukiriza ebiruubirirwa byayo.

Abamu ku bakiise b’Olukiiko nga bali mu musomo

“Bingi nnyo ebirowoozo naye bwe tumala okubikung’aanya kiba kyetaagisa okubisosowaza okulaba nti tetuva ku nnono y’Obwabakaka ate netugenda mu maaso,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza.

Bino Owek. Kaawaase abyogedde aggulawo Omusomo gw’Abakiise b’Olukiiko lwa Buganda ku Buganda Royal Institute e Kakeeka Mmengo, leero ku Mmande.

Owek. Kaawaase ategeezezza nti kumpi buli mukiise alina ekirowoozo ekirungi ng’abamu balowooza kugulira Beene Nnyonyi ate abalala balowooza ku kuzimba ddwaliro era nga waliwo n’abaagala Buganda erime ebikajjo wabula nga bino baba balina okubirondobamu.

Kaawaase annyonnyodde nti bwe bamala okwetegereza n’okusengeka ebirowoozo bino, bakola enteekateeka Nnamutayiika ebayamba okumanya gye balaga n’ekkubo lye balina okukwata wakati mu kugoberera ennono.

Ono annyonnyodde abakiise nti ensi ekyukakyuka buli kadde nga Nnamutayiika y’ebayamba okwetegekera enkyukakyuka nga bwe/guli kati mu mbeera ya COVID-19.

Owek. Kaawaase agasseeko nti amaaso bagatadde ku kwolesebwa kw’okutwala Buganda ku ntikko, kino baakukikola nga bakuuma obuwangwa n’ennono, okusitula embeera z’abantu ba Kabaka wamu n’okulaba ng’eggwanika liyingiza ensimbi.

Akiggumiza nti okutuuka ku bitwala Buganda ku ntikko balina okunyweza ensonga Ssemasonga ettaano n’asaba abakiise okuyambako okuzituukiriza.

Ate ye akulira ebyensoma mu ssettendekero wa Muteesa, Prof. Fred Musisi, abangudde abakiise ku buvunaanyizibwa, ebisaanyizo n’engeri omukiise gy’alondebwamu okukiika mu lukiiko.

Abalaze nti olukiiko lwaliwo nnyo mu kulwanirira Buganda mu biseera bya Obote era nga lwali luvumu era nga singa babeera bavumu basobola bulungi okuzza Buganda ku ntikko.

Omusomo guno gugenda kumala olunaku lulamba nga gubumbujja wansi w’omulamwa ‘Obukulembeze n’okuzza Buganda ku ntikko’ nga gwetabiddwako, Minisita Noah Kiyimba, Omumyuka wa Sipiika w’Olukiiko Ahmed Lwasa n’Abeebitibwa abalala.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist