• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Tulina okukomya entalo oba tusaanewo nga NRM – Sseninde

Gambuuze by Gambuuze
November 9, 2021
in Eby'obufuzi
0 0
0
Tulina okukomya entalo oba tusaanewo nga NRM – Sseninde
0
SHARES
93
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kayunga

Akulira okukunga abantu mu kibiina kya National Resistance Movement (NRM), Rosemary Sseninde asabye bannakibiina mu Kayunga  okukomya entalo kuba zibafiiriza obuwagizi nga bwe kyalabikira mu kalulu akaakaggwa aka 2021.

Okulabula kuno Sseninde akuwadde alambula disitulikiti y’e Kayunga ku ssomero lya Bbaale Secondary School ku Lwokubiri n’asaba abakulembeze b’eggombolola y’e Bbaale okubaako kye bakola  oba si ekyo ekibiina kyakwongera okufiirwa obuwagizi nga buva ku ntalo eziri mu kibiina.

“Ekyatuwanguza mu kalulu akawedde tegaali maanyi ga Opozisoni naye entalo mu bammemba baffe nga NRM.  Ezimu ku ntalo zino za buntu naye ziranda mu kibiina naye tulina okuzeewala.” Ssenninde bw’ategeezezza abakulembeze

Ono annyonnyodde nti akaseera katuuse beegatte nga bannakibiina bw’eba baagala ekibiina kyabwe okusigala nga kyamaanyi mu bantu.

“Twafiirwa ebifo bingi eri aba Opozisoni kuba twabawa omukisa. Entalo ezo zirina okukoma kati. Mu kalulu ka ssentebe wa disitulikiti y’e Kayunga. Twegatte tuwagire omuntu omu anaasobola okutwala disitulikiti eno mu maaso.” Sseninde bw’agasseeko.

Sseninde agamba nti akozesezza omukisa guno okuwuliriza ebizibu bya bantu era akkiriza nti bagenda kubifunira eky’okuddamu.

Okusinziira kw’akulira ebyamawulire mu NRM, Emmanuel Dombo, annyonnyodde nti enkiiko zino zigendereddwamu okuzza obuwagizi bw’ekibiina.

Kinajjukirwa nti ezimu ku ntalo ezibadde zitaggwa mu kibiina kino kuliko olw’omubaka Aidah Nantaba ne  Ssentebe w’ekibiina kino mu Kayunga, Moses Karangwa.

Olutalo luno lumaze emyaka egisoba mu 10 era kaweefube w’okugonjoola ekizibu eyakulemberwamu Pulezidenti Museveni talina kalungi ke yavaamu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist