Bya Ssemakula John
Kampala
Munnakisinde kya ‘Renewed Uganda’ era munnamagye eyawummula Lt. Gen. Henry Tumukunde asabye bannayuganda obutaggwamu ssuubi kuba pulezidenti Museveni bakyasobola okumuwangula nga bayise mu kalulu.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/01/Tumukund-1024x592.jpg)
Bino Tumukunde abyogeredde ku kkooti ya City Hall bwabadde agenze okulabikako mu maaso g’omulamuzi ku misango egyekuusa ku kulya mu nsi olukwe nga ono yali yasaba kkooti eno esindike omusango gwe mu kkooti enkulu.
Tumukunde yagambye nti bannayuganda bwebaba baagala okuwangula gavumenti ya Museveni balina okwemanyika obutasikirizibwa ssente za Museveni bonna boogeze eddoboozi limu.
“Buganda yalaze nti esobola okunaabira Museveni mu maaso era nga kati omulimu gusigalidde bannayuganda balala okumma abantu bano akalulu, era kisoboka okubawangula,” Tumukunde bwe yagambye.
Tumukunde era yeekokodde gavumenti gyagamba nti yamutulugunyiza nnyo nemulemesa okukunga bannayuganda okumuwagira nga eno y’emu ku nsonga lwaki yafuna obululu butono ddala.
Ono yaggulwako omusango guno mu mwezi gwa October oluvannyuma lw’okusangibwa n’emmundu etali mpandiise ku woofiisi ze ezisangibwa e Kololo era nga oludda oluwaabi lulumiriza nti ono bweyali ku Ttivi emu mu Kampala yagamba nti ajja kuyambako abagwira abaagala okuggyako Museveni.