Bya Francis Ndugwa
Namirembe
Nnaalinnya Annie Sarah Kagere Nandawula asabye gavumenti ya Uganda okulung’amya abantu ku nkozesa entuufu ey’emikutu gy’omutimbagano kisobole okukomya ebikolwa ebityoboola ekitiibwa ky’abaweereza wamu n’abantu abali okumpi n’Obwakabaka. Bino Nnaalinnya Kagere yabyogeredde mu Lutikko e Namirembe mu kusabira ab’Olulyo Olulangira okwenjawulo.
“Tuleke okuvuma, okukonjera n’okutyoboola ekitiibwa ky’abo abali okumpi ne Kabaka waffe ate n’abo abali mu buweereza obw’enjawulo mu Bwakabaka, tuleme ku bamalamu maanyi,” Nnaalinnya Kagere bw’e yasabye.
Ono yakubirizza ab’Olulyo Olulangira okwewala okwetaba mu basiiwuuka empisa kuba bo ng’Olulyo Olulangira, balina kubeera kyakulabirako.
“Ffe ng’Olulyo Olulangira tusaanye tubeere eky’okulabirako eri abalala ku ngeri y’okweyisaamu. Balina bye batusuubiramu era abamu bwe twogera bawulira.” Nnaalinnya Kagere bwe yaggumizza.
Ono yannyonnyodde nti waliwo abantu abawanuuza kino nakiri n’ekigendererwa ky’okuggya Abaganda ku mulamwa bw’atyo n’asaba Olulyo Olulangira obutabawa matu.
Nnaalinnya Kagere yasinzidde wano n’ajjukiza abantu ba Buganda okuteeka mu nkola ebiragiro bya Beene ku by’obulamu , ebyenjigiriza n’enkulaakulana, basobole okuzza Buganda ku ntikko.
Ate ye Ssaabalangira wa Buganda, Musanje Godfrey Kikulwe Ngobe, yasinzidde mu kusaba kuno n’ategeeza nti waliwo abantu abalina ebiruubirirwa eby’okuwabya abantu ba Buganda naye n’akakasa nti tebajja kubaganya.
Eyakulembeddemu okusaba kuno, Mulabirizi w’e Mukono eyawummula, Dr. Ndawula Solomon Ssenyimba, yalaze okutya ku ebyo ebiriwo ebiraga nti obuntubulamu buwedde mu bantu.
Okusaba kuno kwetabiddwako; Nnaalinnya Elizabeth Nakabiri, Nnaalinnya Dina Kigga, Nnaalinnya Beatrice Namikka, Ssaabaganzi Ssaalongo Emmanuel Ssekitooleko, Omutaka Walusimbi, Omutaka Kasujju Lubinga n’abalala.