Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti Uganda nneetegefu okukolagana n’omukulembeze yenna bannakenya gwe banaalonda ku bwapulezidenti .”Yenna anaayitamu okubeera Pulezidenti w’e Kenya. Tujja kukolagana naye kasita anaabeera ng’alondeddwa bannansi.” Museveni bw’annyonnyodde.
Akalulu mu ggwanga lya Kenya kasembedde nga kagenda kubibwa nga August 9, 2022 lwe bagenda okulondera ababaka mu lukiiko lw’e ggwanga, n’olukiiko oluddako awamu n’abakulembeze omuli ba Gavana awamu n’enkiiko eza wansi.
Bino Museveni yabyogedde asiibula abadde omubaka wa Kenya mu ggwanga, Ambasada Kiema Kilonzo. Kilonzo abadde amaze emyaka 3 mu kifo kino nga yasazeewo okuddayo mu Kenya asobole okuvuganya ku kifo kya Gavana we Kitui.
Okusinziira ku Museveni omukwano wakati w’amawanga gano gombi gwe gusinga amakulu nga si nsonga ani abeera awangudde obwapulezidenti enkolagana ebeera erina okugenda mu maaso.
Ambasada Kilonzo yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okumuteerawo embeera ennungi mu myaka 3 gy’amaze mu kifo ng’esobozesezza ebyensubulagana wakati Uganda ne Kenya wadde wabaddewo ekirwadde kya Corona.
Ono era yeebazizza gavumenti ne bannayuganda olw’omukwano gwe bamulaze ekisobozesezza enkolagana wakati w’amawanga gombi okugenda mu maaso.
“Nga nsiibula okuva wano, njagala okukiddamu nti bannayuganda bandaze omukwano era wano wafuuse waffe.” Kilonzo bw’agambye.
Kilonzo yalondebwa Pulezidenti Uhuru Kenyatta mu 2018 in 2018, okubeera Ambasada wa Kenya e Uganda.