Bya Gladys Nanyombi
Kamwokya
Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) David Lewis Lubongoya ategeezezza nti bagenda kwekenneenya ensobi entono ezaakoleddwa mu kuwa abantu kkaadi era baakufulumyawo ekiwandiiko mu bwangu ku nsonga eno.

Lubongoya bino yabyogeredde ku kitebe ky’ ekibiina e Kamwokya ku Mmande bwe yabadde asisinkanye abamu ku bantu abaabadde baleese okwemulugunya kwabwe ku ngeri gye bammiddwamu kkaadi.
“Twafulumizza enkalala ku bifo bya bakkansala, Mmeeya ne bassentebe ba disitulikiti era ne tusaba omuntu yenna atamatidde akuleete okwemulugunya kwe. Mbakakasa tutaddewo akakiiko k’abakugu okusunsulamu abalina ensonga n’obukakafu obumala era tusaba abantu okubeera abagumiikiriza nga bwetutereeza ensonga eno.” Lubongoya bwe yagambye.
Ono yakakasizza nga bwe bayimirizza okugaba sitampu ezirina okutwalibwa mu kakiiko k’ebyokulonda eri abo ababadde batandise okwewandiisa okutuusa okwemulugunya nga kukoleddwako.
“Tetusobodde kuwa bantu ba Kampala, Wakiso ne Mukono kubanga tetusobola kuzigaba nga wakyaliwo abeemulugunya.” Lubongoya bwe yalambudde.
Abamu ku bannakibiina abakung’aanidde ku kitebe ky’ekibiina baasabye ensonga eno ekwatibwe n’obwegendereza kubanga esobola okwabuluzaamu ekibiina ate nga kibadde kirina obuwagizi mu bantu.
Abakulu beevumbye akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire n’ababadde beemulugunya era nga kye tutegeddeko kiri nti abakulu basuubiza okuteekawo obwenkanya n’okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abasabye ssente okuyisaawo abamu ku beesimbyewo.
Omu ku beemulugunya, Ssonko Muhammed ng’abadde yeegwanyiza bwakkansala bwa L.C5 ku lukiiko lwa Munisipaali y’e Kira yategeezezza nti tewabaddewo bwenkanya mu kugaba kkaadi era abakulu basaanye ensonga eno okugitunulamu.
“Baleese ffe abasajja abamanyi ne batwala abantu abanafu abagenda okuzza ekibiina emabega era tusaba abakulu okwongera okwekenneenya n’okunoonyereza ku bantu be baalonze okuwa kkaadi y’ekibiina,” Ssonko bwe yannyonnyodde.
Ate ye Muhusin Kakande eyabadde yeegwanyiza ekifo kya ssentebe wa L.C5 mu Kawempe North yasabye banne basoyiwagane kubanga ekigendererwa ekikulu kiri mu kukyusa bukulembeze bwa ggwanga lyonna nga baggyako Pulezidenti Yoweri Museveni.
“Buli akkiririza mu nkyukakyuka nkusaba okusooka okwesonyiwa obukuubagano obuli mu kibiina tusooke tufe ku kintu kimu eky’okuwanika omukulembeze waffe Robert Kyagulanyi kubanga y’agenda okututaasa ku Museveni,” Kakande bwe yalambuludde.
Ekirindiriddwa kwe kulaba ebinaava mu kakiiko akateereddwawo okugonjoola endooliito zino.








