Bya Yusufu Muwuluzi
Kampala
Minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti, Esther Mbayo, ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku bigambibwa nti abamu ku b’ebyokwerinda beenyigira mu kwekalakaasa kuno ne balemwa okukola omulimu gwabwe.
Bino Mbayo yabyogeredde mu lusirika lw’abatwala eby’okwerinda okuli; ba RDC, DISO ne bassentebe ba NRM mu disitulikiti ez’enjawulo ezikola ettundutundu lya Masaka, olwayindidde ku Hotel Brovad eggulo ku Lwokusatu.
“Waliwo ab’ebyokwerinda abalwanyisa gavumenti era tubamanyi era tukola buli kimu okubakolako. Ggwe bw’oba olwanyisa gavumenti obeera okolerera ani? Ebintu bino bitegeke era abamu wakati mu kwekalakaasa baatuula butuuzi ne bagaana okufaayo okukuuma abantu.” Mbayo bwe yagambye.
Minisita Mbayo yagambye nti kyewuunyisa okulaba ng’amawanga g’ebweru gavumirira enneeyisa ya b’ebyokwerinda kyokka ne batavaayo ku beekalakaasa abaakola effujjo n’okwonoona ebintu.
Ono yagasseeko nti gavumenti yeetegese ekimala okukuuma bannayuganda ne byabwe era n’asaba abeesimbyewo okukuuma obulamu bwa bantu.
Mbayo agamba nti wadde waliwo ensobi ezaakolebwa ku ludda lw’abapoliisi, naye bannayuganda balina okukimanya nti tewali muntu atuukiriddde.
Kino kyaddiridde okwekalakaasa okwali mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) e Luuka.
Okwekalakaasa kuno kwafiiramu abantu abasoba mu 50 era ng’ebintu ebiwerako byayonoonebwa.
RDC wa Kyotera, Maj. David Matovu yasinzidde mu lusirika luno n’asaba gavumenti okuvaayo ekome ku bakulembeze b’ennono ne bannaddiini b’agamba nti batandise okukuma mu bantu omuliro.
Matovu yannyonnyodde nti abamu ku bannaddiini n’abakulembeze b’ensikirano, balina obukyayi ku gavumenti.