Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Omubaka wa Palamenti akiikirira Bukoto East, Evans Kanyike ategeezezza nti bagenda kukunga abantu okuva mu bitundu by’eggwanga ebirala okubawagira ku nsonga ya mayiro okusigala singa gavumenti eremerako neyagala okuliggyawo.
Bino Kanyike yabyogeredde ku kyalo Gulama mu kudduukirira abalonzi be n’ensigo za kasooli awamu n’ebijjanjalo ebibalirirwamu obukadde bwa silingi obuwerera ddala 25 okubayamba okwegobako enjala n’okweggya mu bwavu.
Kanyike abantu ba Buganda yabasabye okubeera obumu era bagume kuba bbo nga ababaka abava mu Buganda engabo bagilumisizza mannyo nga nebwekiba kyetaaga kwogereza bannabwe abava mu bwakabaka obulala babeegatteko bagenda kukikola.
Ono yannyonnyodde nga bwebatandise edda okwogerezeganya n’ababaka abalala okusobola okusuuza gavumenti ettaka lya Buganda ne bannansi lyeyagala okutwala kuba kimenya mateeka.
Okusinziira ku Kanyike, amateeka agaliwo mu kiseera kino gamala nga singa buli kitongole kya gavumenti ekikola ku ttaka kituukiriza obuvunaanyizibwa bwakyo emivuyo ku ttaka gisobolera ddala okukendeera.
Ku nsonga y’ensigo eziweereddwayo, Kanyike ategeezezza nti abantu mu kitundu kino babadde bubi kuba byonna byebalina mu sizoni ewedde byafa nga bano abasuubizza n’okubawa ebigimusa awamu ne bomba ezifuuyira okubanguyiza embeera.
Mungeri yemu yasinzidde wano nawabula abavubuka okukomya obwa ssemugayavu nga baagala okusabiriza n’okulindanga okuweebwa naye batandiike okulunda n’okulima kuba mwemuli ssente.
Ye ssentebe wa disitukiti ye Masaka, Andereya Lukyamuzi Batemyetto, yalabudde abatuuze abakyalina emmere obutagyetundako kuba basuubira enjala mu mwezi oguwedde.
Abatuuze basiimye Kanyike olw’okubadduukirira n’ensigo era nebamusuubizza okuzikozesa obulungi.