Bya Stephen Kulubasi
Kampala
Poliisi y’eggwanga etegeezezza nti egenda kussa ekitiibwa mu kiragiro kya kkooti ekigiragira okuva mu maka g’omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) naye n’etegeeza nti egenda kusigala ng’emukketta n’okumutambulizaako amaaso.

Kino kiddiridde kkooti enkulu mu Kampala okuwa ensala yaayo leero ku Mmande ng’eragira abakuumaddembe okuva mu maka ga Bobi Wine mu bwangu era ono bw’aba alina omusango gwe yazza atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.
Kyagulanyi yali yasibirwa ewaka we oluvannyuma lw’okulonda era ng’abakuuma ddembe okuli poliisi n’amagye ababadde tebakkiriza muntu yenna ekyawaliriza bannamateeka be okuddukira mu kkooti era nayo n’eyisa ekiragiro.
Bw’abadde ayogera ku nsala eno, omwogezi wa poliisi, Fred Enanga, ategeezezza nti wadde tebannafuna kiragiro kino naye bajja kukiteeka mu nkola era bave mu maka ga Kyagulanyi.
“Wadde tetunnafuna nsala eno naye ng’ekitongole ekiteeka ekitiibwa mu kkooti era ekikuuma amateeka, tujja kugiteekamu ekitiibwa, ab’ebyokwerinda bajja kuva mu maka g’Omubaka Kyagulanyi.” Enanga bw’agambye.
Oludda oluwaabi lwabadde lutegeezezza kkooti ng’okusibira Kyagulanyi ewaka we bwe kyabadde kikoleddwa okumulemesa okukunga abantu okwekalakaasa era n’okumutangira okumenya amateeka kuba atera okukuba enkung’aana ezisobola okutambuza ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Wabula bino omulamuzi yabigaanye n’ategeeza nti tewali bukakafu ku nsonga eno era bwe baba balina obukakafu bamutwale mu kkooti.
Poliisi egamba nti tegenda kuwakanya nsala eno wadde nga bajja kusigala nga balondoola Omubaka Kyagulanyi okusobola okukuuma emirembe.
“Tugenda kusigala tututunuulira okukakasa nti tamenya mateeka. Tulina okulaba nti emirembe gikuumibwa kuba gwe mulimu gwaffe okutangira okuzza emisango.” Enanga bw’annyonnyodde.
Okusinziira ku Enanga eby’okumulondoola bakikoze okulaba ng’ono tatambangula mirembe gya bannansi era ono asabye Kyagulanyi okugondera ekiragiro kya kkooti agondere ebiragiro bya Ssennyiga Corona.








