Bya Pauline Nanyonjo
Ndeeba-Kyaddondo
Tubeere balamu Yinsuwa eyongedde okulaanda mu ssaza Kyaddondo bwewandisiza abantu abagya abeyunze ku nkola ya yinsuwa y’obulamu mu ggombolola ya Mukulu wa Kibuga Lubaga mu bitundu by’omu Ndeeba nga bano basoose kufuna bujjanjabi bwa bwerere okuva mu Kabaka Foundation.

Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke asinzidde ku mukolo guno n’asaba abantu bonna okunyiikira okwekebezaanga bulijjo kuba kibayamba okwetegula endwadde zinamutta.
“Bannange obulamu bwetutambuliramu ssi bwangu naye ekirungi abasawo batuluŋŋamya bulungi ebiro bino era okwekebeza kirungi nnyo kuba buli lw’ojja ne wekebeza omanya bw’oyimiridde kyokka bw’obeera ku yinsuwa ya Tubeera balamu kikuyamba okwekebeza w’oyagalidde n’okujjanjabwa” Minisita Kazibwe bwanyonyodde.
Minisita Kazibwe akubirizza abantu ba Kabaka okulya emmere esaanidde era nga ya mugaso mu mibiri gyabwe nga bano abalaze nti ne bwe banajjanjabwa nga bongera okulya n’okunywa obutwa buli lukya okujjanjabwa bamala gaamubulago.
Oweek. Kazibwe asabye abantu bonna abawangaalira mu Ssaza Kyaddondo okwetaba mu kujaguza emyaka 33 egya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ku Nnamulondo nga beyiwa e Bweyogerere ku Watoto Church emikolo gye ginaabeera.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala alaze nti Yinsuwa eno egendererwamu okukyusa embeera y’obulamu bw’abantu mwe bawangaalira nga obujjanjabi babufuna mu kaseera akatuufu awatali kudda mu kino nakiri ekiviirako abangi okufa mu ngeri ey’ekibwatukira.
Omukungu Ndagala anyonyodde nti ekitongole ky’akulira kirina eddimu ly’oksomesa abantu baveemu obutamanya ku nkola za yinsuwa ez’enjawulo n’ebirowoozo ebikyamu ku yinsuwa ekibagana okuzeyungako.

Tubeere Balamu yinsuwa yakwongera okwanjulwa mu bitundu bye Ssaza Kyaddondo ebyenjawulo okusobozesa abantu ba Kabaka okugyeyungako mu bitundu byonna gye bali awatali kukalubirizibwa. Okwewandiisa ku Yinsuwa kwa mitwalo abiri mu mwenda mu kanaana (298000).









