• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ttiimu y’Obwakabaka yakuzannya Uganda Cranes

Gambuuze by Gambuuze
April 12, 2022
in Amawulire, Ebyemizzanyo
0 0
0
Ttiimu y’Obwakabaka yakuzannya Uganda Cranes
0
SHARES
73
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Ttiimu y’Obwakabaka bwa Buganda eyalondeddwa okuva mu Masaza ag’enjawulo egenda kuttunka ne ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes ku kisaawe kya Wakisha ku Lwokutaano ng’ennaku z’omwezi 15/04/2022 okwongera okutumbula omuzannyo gw’omupiira mu Ggwanga.

Kino kirangiriddwa Minisita w’Ebyemizannyo n’Okwewummuzaamu mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu bwabadde atongoza ttiimu eno mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Waliwo enteekateeka y’okulaba nti Obwakabaka buvaayo ne ttiimu yaabwo entongole. waliwo ekibuuzo ekigamba nti bwemumala empaka z’amasaza ez’akamalirizo kiki ekiddako? Mu nteekateeka eno tukolagana n’atwala omupiira mu Ggwanga obutavuganya nabo naye okuyambako okujjuliriza amaanyi gebateekamu,” Minisita Ssekabembe bw’agambye.

Mu nteekateeka eno Obwakabaka bugenda kuleeta ttiimu ya bantu 25,  abatendesi 2, ne Maneja wa ttiimu omu esobole okufuna omukisa oguzannya omupiira ogw’omukwano ne ttiimu y’Eggwanga eya Uganda Cranes.

Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, omupiira guno gugenda guzannyibwa ku Lwokutaano ku ssaawa 10 ez’olweggulo ku Kisaawe kya Wakisha. Ono annyonnyodde nti ttiimu ya Buganda yamala dda okulondebwa era eteekeddwateekeddwa bulungi nga yaakuyingira enkambi olunaku lw’enkya.

Owek. Ssekabembe agamba nti abawagizi baweereddwa omukisa ogw’enjawulo okulaba omupiira guno ku bwerere okusobola okuzza obuganzi bwa ttiimu y’Eggwanga n’asaba abantu okuvaayo mu bungi okugiwagira.

Ono alaze nti waliwo n’enteekateeka endala ey’okusamba ttiimu z’obukulembeze bw’ennono obulala okusobola okuggyayo ebitone.

Eyalondeddwa okubeera Maneja wa ttiimu eno,  Sulaiman Kiwanuka ategeezezza nti guno omukisa gwa maanyi ogumuweereddwa, era ajja kukola kyonna ekisoboka okulaba nti abazannyi bano 25 bakomawo n’obuwanguzi era basuubira okusula mu nkambi okumala ennaku 3 nnamba.

Ate omutendesi omukulu owa ttiimu eno, Richard Malinga agamba ebikolwa bye n’obukambwe bye biri nnyo mu mupiira era wakukola kyonna okulaba nti ttiimu y’Omutanda ewangula.

Abamu ku bazannyi abali mu ttiimu eno kuliko;  abakwasi ba Ggoolo okuli Isaac Kwizera okuva e Buweekula, Mike Lutaaya okuva e Buddu, Tonny Atugonza owa Bulemeezi. Abazibizi kuliko Gideon Odong, Harunah Lukwago,  Abdallah Ssentongo nga bonna b’e Buddu.

Abalala ye Kenneth Sekkoolya owa Bugerere, Godfrey Anjole ow’e Bulemeezi n’abazannyi abalala okuva e Kyaggwe, Mawokota ne Busiro.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.