• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ttabamiruka wa Nkobazambogo: Bannakibiina bakubiriziddwa okukuuma ekitiibwa ky’ekibiina

Gambuuze by Gambuuze
April 23, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ttabamiruka wa Nkobazambogo: Bannakibiina bakubiriziddwa okukuuma ekitiibwa ky’ekibiina
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Jjuuko Huzairu Wasajja

Mmengo – Mmengo

Olukiiko lwa Nkobazambogo mu ggwanga lutuuzizza ttabamiruka wa bannakibiina bonna mu Bulange e Mmengo, okubaluŋŋamya engeri gye balina okutambuzaamu emirimu gy’ekibiina.

Minisita w’Abavubuka mu Buganda akubirizza bannakibiina bano okukuuma ekitiibwa kya Nkobazambogo nga bakola ebyo ebisaanidde, ategeezezza abakulembeze bano nti wadde bali mu bukulembeze mu matendekero gye bali naye obukulembeze buleme kubeerabiza kyabatwala mu matendekero ago, basseeyo omwoyo ku misomo gyabwe.

“Mbasaba muleme kwerabira ekyabatwala mu ssomero wadde muli bakulembeze kubanga okusoma kye kisumuluzo ekiggula buli luggi, tekirabika bulungi eri abalala omukulembeze okugwa ebibuuzo n’olwekyo omukulembeze alina okubeera ekyokulabirako” Minisita Serwanga.

Minisita akubirizza abakulembeze okuteekawo enkolagana ennungi wakati waabwe nga banonya emikwano egibagattako kisobozese okuggyayo obulunji amakulu g’omubala gwa Nkobazambogo “Obumu ge maanyi”.

“Abakulembeze temulina kwetya era ssaagalira ddala mukulembeze mubongoofu, mubeere bajagujagu ate mukwane emikwano ejinabakwata ku mikono” Minisita Serwanga. Amalirizza nga abakuutira okwagala Kabaka waabwe naddala nga n’omulembe gwe ‘Omutebi’ yagubakwasa.

Ssentebe wa nkobazambogo mu ggwanga Ssemuju Moses Mwanje akubirizza Bannankobazambogo bano okwongera okwenyigira mu nteekateeka z’obwakabaka bazaagazise abalala nabo bazimanye.

“Bannankobazambogo mmwe musookerwako okusoosowaza enteekateeka z’Obwakabaka n’olwekyo tubakubiriza okwongera okwenyigira mu nteekateeka ezo ate mu zimanyise nabo abatazitegeera kubanga mmwe ggye lya Kabaka erisookerwako” Ssemujju.

Ono ayongedde n’akubiriza abavubuka bano okufaangayo okumanya wamu n’okutegeera ebyo omukulembeze ajjudde by’alina okubeera nabyo, abakubirizza okwegomba abakulembeze ababasingako olwo lwe banaasobola okuvuganya mu nsi eno ejjudde okugezesebwa.

Owek. Hassan Kiyemba nga ye mukwanaganya w’abavubuka mu ggwanga akubirizza abakulembeze bano okukolera awamu nga ekibiina nga bayita mu mitendera emituufu kisobozese okunyweza obuweereza bwe balimu.

“Mwewale okukola emirimu mu ngeri ya gadibe ngalye, munyiikire okwebuuza ku bantu ababasingako nga temunakola bintu biswaza Bwakabaka” Oweek. Kiyemba. Ategeezezza nti mweralarikirivu nnyo olw’obunafu abakulembeze bwe balina ensangi zino ekiyinza okuzza emabega ekibiina.

“Omulembe gwe tulimu gwa tekinologiya, naye ndi mweralarikirivu nnyo okulaba nga temusobola ku kozesa tekinologiya oyo kutwala kibiina mu maaso n’olwekyo tubakubiriza okuzuukuka wamu n’okwewala eby’olwatta omwami nnalumanya” Kiyemba.

Kiyemba agumizza abakulembeze bano obutatya buweereza era n’abajjukiza nti obukulembeze buva eri Katonda wabula ku nsonga eyo ayongedde n’abakubiriza okubeera abanyiikivu nga batuukiriza ebibasubirwamu mu buvunaanyizibwa bwe balimu.

Oweek. Dr. Rashid Lukwago yebazizza abakulembeze bano okubeera n’empisa ennungi era asinzidde wano n’abasaba okunyiikira okuweereza Kabaka waabwe. Ono era akubirizza abakulembeze bano okwongera okwenyigira mu nteekateeka ey’okwesimbawo mu bukulembeze obwenjawulo mu mabendobendo gaabwe.

“Ffena tukkiriza nti obukulembeze buva eri Katonda n’olwekyo temutya kwongera kwesimbawo mu bukulembeze obulala era awo tubakubiriza okwesimbawo mu ma bendobendo gammwe mu bukulembeze obwenjawulo” Dr. Rashid.

Bannakibiina bano bakubaganyiza ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo era ebiteeso ebiwerera ddala munaana biyisiddwa, bannakibiina ne bakubirizibwa okuteeka mu nkola ebyo ebikanyiziddwako.

Ttabamiruka ono akubirizziddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Nkobazambogo mu ggwanga Mutaasa Michael, era ono ategeezeza nti ttabamiruka w’ekibiina addako ajja kutuula mu lusoma olujja.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.