Musasi waffe
Kkampuni ya Toyota Uganda ku Mmande yalangiridde nga bweggadde ettabi lyaayo ery’e Kampala oluvanyuma lw’okuzuula abakozi baayo 3 nga balina ekirwadde ki sennyiga Kolona.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssenkulu wa Toyota Mahmood Omar, yagambye nti, “Okuva leero, ettabi lyaffe e Kampla ku ‘1st Street’ mu ‘Industrial Area’ ligenda kuggalwa okutuusa nga twongedde ku mitendera egiziyiza ekirwadde kino era n’okukakasa nti abakozi baffe bonna balamu bulungi. ”
Ono yanyonyodde nga abamu ku bakozi babwe bwebatandise obutawulira bulungi ate nga balina obubonero obwa COVID19 ekyabawalirizza okubakebera oluvanyuma nebakizuula nti balwadde.
Aba Toyota bagambye nti bali mukukolaganira wamu ne minisitule y’eby’obulamu okulaba nga balwanyisa ekirwadde kino.
Basabye bakasitoma babwe okusigala nga bakozesa ekitebe kyabwe ne Namanve wamu n’amatabi amalala mu ggwanga, bino webigidde nga abaakafa ssennyiga Kolona mu Uganda baweze 9.
Sennyiga Kolona akyagenda mu maaso n’okusaasaana mubitundu by’eggwanga eby’enjawulo wabula nga bannayuganda bangi tebafuddeyo kwekuuma kirwadde kino.