![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Kalerwe.png)
Bya URN
Tiyaggaasa anyoose eggulo ya leero ku Kalerwe nga kampuni ya masannyalaze eya Umeme ekola ebikwekweto by’okukwata abantu ababba amasannyalaze. Aba Umeme nga bawerekeddwako poliisi, amagye wamu n’abasirikale b’eggye ekkuuma byalo, bazinze Kalerwe ne Mulago okulambula amayumba agalina amasannyalaze amabbe.
Wabula abatuuze nga bataamye obugo baalemesezza bano okutuuka mukitundu oluvanyuma lw’okussa emisanvu muluguudo wamu n’okubakaasukira amayinja.
Kino kyaleetedde poliisi okutandika okukuba omukka ogubalagala okusobola okubagumbulula ng’eno ab’amagye bwebabagoba wamu n’okubakuba emiggo.
Omu kubakoseddwa omukka ogubalagala Umar Lwasa agamba nti akakebe ka tiyaggaasi kaakasukiddwa mudduukalye newankubadde nga yabadde teyeekalakaasa.
Ono yagambye nti Umeme kyerina okukola kwekusomesa abantu obutabbirira masannyalaze sosi kubaleetera basirikale okubakubamu omukka ogubalagala.
Akulira eby’okusolooza ssente mu Umeme mu bitundu bya Kampala John Nuwamanya yategeezezza nti baasanze amayumba mangi nga tegalina mita ate malala nga mita tezibala. Yategeezezza nti Umeme efiirwa obuwmbi munaana buli mwezi mu bubbi bwa masannyalaze.
Abantu 52 bebaakwatiddwa mukitwekweto kino.