• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Tewali asobola kutuggyako bifo byaffe bya Nnono – Owek Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
October 14, 2020
in Agafa e Mengo
0 0
0
Tewali asobola kutuggyako bifo byaffe bya Nnono – Owek Kyewalabye
0
SHARES
13
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa
Kyaggwe

Minisita w’ebyobuwangwa n’olulimi, Owek. David Kyewalabye Male, ategeezezza nti kikafuuwe Buganda okukkiriza abantu abeesenza ku ttaka ly’ebifo by’ebyobuwangwa n’ebika okutandika okuligabanyizaako Buganda.

Omutaka Muyige nga aliko byalaga Minisita Kyewalabye

“Abatali bantu baffe wano okusalawo okuba nga be. bafung’amye era be bakuuma ebifo byaffe eby’ebyobuwangwa babitugabanyizeeko, ekyo ng’Obwakabaka tetujja kukkiriza,” Owek. Kyewalabye bw’agambye.

Owek. Kyewalabye yakadde ku Lwokubiri okulambula embuga y’Omutaka Muyige akulira ekika ky’Ekibe e Wantaayi mu Kyaggwe, bw’atyo bweyalidde mu ttama oluvannyuma lw’okusanga nga waliwo abagisibyeko ekikomera.

Ono annyonnyodde nti beetegefu okulwanirira ebifo bino okutuusa ng’embeera eteredde.

Kyewalabye alambuludde nti mu ngeri ey’okutwala ebifo bino, kabonero kankukunala akalaga nti omulabe ayagala okusaanyaawo Buganda atandikidde waka.

Minisita Kyewalabye nga bamulambuza ettaka ly’ Ekibe

Minisita Kyewalabye yennyamidde okulaba ng’Omutaka akulira ekika ky’Ekibe mu kadde kano talina w’ayita kutuuka wuwe nga n’ekifo we bamuteerako ng’alya obukulu, abatwala ettaka lino baasendawo.

Ono yabagumizza nga bwe bagenda okulwana olutalo luno mu bukkakkamu basobole okuluggusa nga bakwataganidde wamu n’ekitongole kya Buganda Land Board.

Ssenkulu wa Buganda Land Board, Simon Kaboggoza, yategeezezza nti wabaddewo enkola etyoboola ettaka ly’ebika naye kati baasazeewo okukwatatagana n’abakulu b’ebika okusobola okutaasa ettaka wonna mu Buganda.

Kaboggoza agambye nti singa abeesenza ku ttaka lino banaalemwa okuleeta obukakafu ku ttaka lino, ensonga bagenda kuzitwala mu kkooti.
Omutaka w’ekika ky’ Ekibe, Muyige Sulaiman Kinaalwa, yalaze obweraliikirivu ku butaka bw’ebika obwenjawulo obusaanyeewo era ng’ensonga eno yagiroopa Embuga.

Yasabye Obwakabaka okufaayo okukuuma Obutaka bw’ebika era n’obwo obutakyalina butaka buzzibwewo kubanga Buganda enywera bika era nga tesobola kutuuka ku ntikko ng’ebika abatamanyang’amba babiwambye.

Omutaka Kinaalwa yannyonnyodde ng’ekkubo erimutuusa ku butaka bwe lyazibibwa era nga waliwo n’olukomera olwateekebwawo okumulemesa okutuuka ku butaka buno era nga abalisengako basiiba bamulabula okulyesonyiwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist