Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita w’ensonga ez’ebweru, Sam Kuteesa, ategeezezza akakiiko k’amawanga amagatte ak’ebyokwerinda akamanyiddwa nga ‘United Nations Security Council’ nti tewali ba byakwerinda bawamba bantu nga bwe byogerwa.
Bino Minisita abyogedde asisinkanye abakulira ebitebe by’amawanga bataano nga gano gatuula ku kakiiko kano wamu ne b’ambasada b’omukago gwa Bulaaya.
Kinajjukirwa nti akakiiko ka ‘UN Security Council’ kaliko ababaka okuva mu mawanga okuli; USA, UK, France ne Russia.
Okusinziira ku Minisitule y’ensonga ez’ebweru, Minisita Kuteesa aliko alipoota gy’awadde abakulu bano ku ebyo ebyaliwo mu kwekalakaasa kwa Novemba 2020 okwafiiramu abantu abawera, oluvannyuma lwa poliisi okukwata omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine.
Kuteesa akakasizza aba ‘UN Security Council’ nti gavumenti ekola buli kimu okuvunaana mu mateeka abo bonna abeetaba mu kwekalakaasa wamu n’okukuba abantu amasasi .
Kimanyiddwa nti oluvannyuma lw’okwekalakaasa okwo waliwo abantu bangi abaakwatibwa wamu n’okutulugunyizibwa era abasinga ku bano bawagizi ba kibiina kya National Unity Platform ekikulirwa Bobi Wine.
Oluvannyuma poliisi yavaayo n’etegeeza nti ku bantu abagambibwa okuwambibwa 40 bali mu mikono gyabwe wabula n’efulumya olukalala lw’abantu 177 abatalabikako.
Kyo ekibiina kya NUP kirumiriza nti abawagizi baabwe abasoba mu 600 be baawambibwa ab’ebyokwerinda.