• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Tewali bujulizi bulaga nti nneekubiira mu musango gwa Bobi Wine – Ssaabalamuzi Owiny Dollo

Gambuuze by Gambuuze
March 17, 2021
in Amawulire
0 0
0
Tewali bujulizi bulaga nti nneekubiira mu musango gwa Bobi Wine – Ssaabalamuzi Owiny Dollo
0
SHARES
96
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ssaabalamuzi w’eggwanga, Alfonse Owiny Dollo, ategeezezza nti tewali bujulizi bumuluma okulaga kyekubiira mu musango gwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, mwe yali awakanyiza obuwanguzi bwa Museveni nga Munnamateeka Male Mabirizi bwe yali alumiriza.

Omubaka Kyagulanyi, Ssaabalamuzi Dollo ne Museveni

Mabirizi yali asabye Ssaabalamuzi Dollo okuva mu musango gwa Kyagulanyi olw’okubeera ne kyekubiira ng’agamba nti Dollo yali munnamateeka wa Museveni mu musango gw’ebyokulonda ogwa 2006 era nga yasooka kusisinkana Museveni ng’omusango tegunnatandika.

Bw’abadde asoma ensala ye, Ssaabalamuzi Dollo, agambye nti kituufu yali munnamateeka wa Museveni emyaka 15 emabega naye ebiseera bingi ebiyise nga tewali bujulizi bulaga nti mu kiseera kino asobola okwekubiira.

“Tekinkakatako kuvaayo mu lwatu kutegeeza nti nali munnamateeka wa Museveni kuba kimanyiddwa eggwanga lyonna era ensi emanyi engeri gye nalondebwamu.” Ssaabalamuzi Dollo bw’annyonnyodde. Ssaabalamuzi agamba nti wadde kituufu omuntu alina okuwulirwa abalamuzi abeetengeredde naye ate tekikola makulu kugendera ku bigambo awatali bujulizi bulaga kwekubiira buba bw’ogerwako.

“Nkisaanye okumanyibwa nti abalamuzi nabo bantu era okutuuka gye bali balina abantu ab’enjawulo be bakolagana nabo. Noolwekyo omuntu asaba omulamuzi okuva mu musango alina okubeera n’obujulizi obwesimba.” Owiny Dollo bw’agasseeko. Akalambidde nti wadde yali munnamateeka wa Museveni emyaka 15 emabega naye tekisobola kukozesebwa kati kulaga nti alina kyekubiira. Ku nsonga y’okusisinkana omukulembeze w’eggwanga, Dollo annyonnyodde nti Museveni yamusisinkana ng’alayiza omu ku balamuzi ba kkooti enkulu abaggya ku lunaku lw’okujjukirwa Janan Luwum wamu ne bwe yali atutteyo embalirira y’ekitongole ekiramuzi  mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe. Bino byonna byali misana ng’ensi eraba era ne kkamera zaaliwo.

Ono agamba nti tewali bujulizi bwonna bulaga nti yali asisinkanyeeko Museveni mu kyama. Dollo yennyamidde olwa Mabirizi okusaba ebiwandiiko ebimukwatako ng’anoonya okuzuulamu ensobi.Ssaabalamuzi agamba mu bbanga lye lyonna nga Ssaabalamuzi abadde yetengeredde era aliko abantu bangi b’awolereza omuli aba Obote n’aba Ssaabayeekera Yozefu Kony ate nga baali tebakwatagana na gavumenti.

Dollo agamba Mabirizi talina buyinza kumusaba kuva mu musango kuba teyali omu ku bawaabi wadde okubeera omu ku bantu abeesimbawo mu kalulu ka 2021.

Alaze nti kikyamu abantu abamu okutandika okulowooza nti endowooza zaabwe buli omu azikkiririzaamu.

Wabula Male Mabirizi ategeezezza bannamawulire nti omusango guno waakugwongerayo mu kkooti ya East Africa asobole okufuna obwenkanya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.